KCCA yaakuggala ennyumba z'abalandiroodi ezitalina Kaabuyonjo mu e Nateete

May 24, 2025

EKITONGOLE kya KCCA kirabudde banannyini mayumba agatalina kaabuyonjo n’etegeeza nti egenda kugaggala ne bannannyini go bavunaanibwe olw’okuvaako obucaafu.

NewVision Reporter
@NewVision

EKITONGOLE kya KCCA kirabudde banannyini mayumba agatalina kaabuyonjo n’etegeeza nti egenda kugaggala ne bannannyini go bavunaanibwe olw’okuvaako obucaafu.

Kino kyaddiridde atwala ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango okukulemberamu abakozi abalala ne bagenda e Nateete mu Kitooro zzooni mu nteekateeka ya Weeyonje n’asanga nga amayumba agamu tebalina kaabuyonjo ate nga n’ezimu zajjula n’abuuza abantu gye beeyambira

Dr. Zalwango n'abalala nga balambula ekinnya kya Kazambi

Dr. Zalwango n'abalala nga balambula ekinnya kya Kazambi

 Dr. Zalwango yasookedde ku kizimbe kya Barius okuli amaduuka n’akunya maneja waayo James Magala okumulaga ekinnya omugenda kazambi ava mu kaabuyonjo n’okumubuuza ddi lwe yasemba okuleeta ekimotoka okunuunamu kazambi yenna kuba we bakisumulidde ekinnya kyalaze nti kijjudde.

Magala yagambye nti aleeta mmotoka ne zimunuunamu wabula yalemeddwa okuleeta lisiiti kw’asasulira ssente.

Dr Zalwango wano yalagidde kaabuyonjo ku kizimbe kino zisooke ziggalwe baleete ekimotoka kimunuunemu  oba okukwatagana n’aba KCCA okufuna mmotoka ne bamunuunamu.

 

Yalabudde abatuuze okukomya okuyiwa kasasiro mu mifulejje n’emyala kuba agiviirako okuzibikira mukoka n’abulwako w’ayita n’avaako amazzi okwanjaalira mu mayumba gaabwe.

Bo abatuuze mu kitundu kino, baasabye KCCA okubazimbira kaabuyonjo z’olukale abantu mwe basobola okugenda kuba ezirimu ntono nga n’amayumba agamu tegalina wamu n’kubayambako mutwala kasasiro mu bwangu aleme kusigala mu kitundu kyabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});