Trump atabukidde aba UN olw’okumukolako effujjo mu lukungaana lw’Amawanga Amagatte

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump atabukidde ekibiina ky’amawanga amagatte, olw’okugezaako okumuteerawo emiziziko n’ekigendererwa eky’okumulemesa okwogera obulungi eri ensi mu lukungaana lw’amawanga amagatte oluyindirae New York mu America.

Trump ng’atuuka mu lukungaana lwa UN olw’omulundi ogwe 80 ku madaala agatambula oluvannyuma ageecanze.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump atabukidde ekibiina ky’amawanga amagatte, olw’okugezaako okumuteerawo emiziziko n’ekigendererwa eky’okumulemesa okwogera obulungi eri ensi mu lukungaana lw’amawanga amagatte oluyindira
e New York mu America.

Trump yalagidde wabeewo okunoonyereza okw’amaanyi ku baani abaabadde emabega w’emiziziko gino, n’ebigendererwa byabwe,era awandiikidde ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte, Antonio Gutteres naye anoonyereze ku kiki ekyabaddewo.
Mu kwogera kwa Trump mu lukungaana lw’amawanga amagatte ku Lwokubiri, yafissaawo akadde n’ayambalira ekibiina ky’amawanga amagatte olw’ebintu isatu ebyamukolwako mu ngeri gy’agamba nti ya bugenderevu, okwagala okunafuya America naye kennyini.
Trump yayise ku mukutu gwe ogwa Truth Social n’agamba nti nga yaakatuuka, olwaba okulinnya ku madaala agatambula (Escalator), ng’ali ne mukyala we Melania Trump, amadaala gaayimirira omulundi gumu, era baakozesa bigere byabwe okulinnya. Aba akyebuuza kwe kivudde, ate abeera atandise okwogerako eri abakulembeze mu lukungaana, n’olutimbe kwe yali asoma bye yali ayogera, nalwo ne luvaako.
Aba akyebuuza ogubadde, ate n’akizuula nti n’emizindaalo gyali tegyogera bulungi mu kisenge mwe baali, kwe kukitegeera nti waliwo abaali emabega w’okumukolako effujjo, okukkakkanya ye n’eggwanga lya America.
Abaddukanya amadaala agatambula mu kizimbe okuli ofiisi z’ekibiina ky’amawanga amagatte yagambye balina okukwatibwa n’ajuliza emboozi eyafulumira mu lupapula lw’amawulire olwa The New York Times gye buvuddeko g’eyogera ku bakozi b’ekibiina
ky’amawanga amagatte abaali mu mboozi nga babalaata, ne bagamba nti baali bajja  kuyimiriza amaddaala galeme kutambula nga Trump azze mu lukungaana luno.
Omwogezi wa Gutteres Stephane Dujarric, yagambye nti tewaabadde kkobaane lyonna mu byabaddewo, n’agamba nti omukwasi w’ebifaananyi bya Trump alabika ye yakoona ku ppeesa eriyimiriza amaddaala gano nga tagenderedde, bwe yali adda ekyenyumanyuma ng’akwata Trump ebifaananyi.
Ate ku ky’amaloboozi obutawulikika nga Trump ayogera, omukungu wa UN omu yagambye omukutu gwa BBC nti ekyo kyali kiteeketeeke, nga baakikola okusobozesa abantu abatawulira luzungu okufuna obubaka okuyita mu buzindaalo bw’omu matu mu
nnimi mukaaga. Singa baaleka emizindaalo mu kisenge mwe baali nga gireekaana, wandibaddewo akavuyo ak’amaanyi ng’abakungu tebasobola kuwulira bulungi
 olw’amaloboozi ag’enjawulo.
Ate ku ky’olutimbe Trump kwe yali asoma byayogera okuvaako, ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bagamba nti basajja be be balina okunnyonnyola ekyo kubanga bwe baayingira munda obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya olutimbe luno ne babuwamba, era ebyabaawo byonna abibuuze ttiimu ye gyatambula nayo