Pulezidenti Yoweri Museveni ng'oggyeeko okwaniriza ababadde abawagizi ba NUP eggulo abaasaze eddiiro, era yasisinkanye abagoba ba takisi n’abakulembeze ba SACCO ez’enjawulo ku kisaawe e Kololo.
Museveni era yasisinkanye abaasunsuddwa okukwatira NRM bbendera mu palamenti mu ttundutundu lya Central Buganda n’abakubiriza okutandika okusakira abalonzi baabwe nga bukyali ne bwe baba nga tebannayingira Palamenti mu butongole.
Pulezidenti yalaze nti ebitundu bingi birimu ababaka ba NRM abasobola okukunga n'okusakira abalonzi n'okulaba nga obuweereza bwa gavumenti butuuka wansi, kale okwenyigira mu nteekateeka eno kikulu nnyo eri abakulembeze abapya okukola impact.
Abaabaddewo ku mukolo guno (okuva ku ddyo okudda ku kkono):
Daniel Kananura – akwatidde NRM bbendera okukiikirira Kira mu Palamenti, ng'ono y'ayagala okusiguukulula omubaka aliyo, Semuju Nganda.
Christopher Talemwa – Kyadondo East
Beth Kayesu – Omubaka omukyala, Wakiso