Abasajja basatu abagambibwa okukuba ne battira omutuuze mu bbaala, bakwatiddwa poliisi

Abasajja basatu abagambibwa okukuba ne battira omutuuze mu bbaala, bakwatiddwa poliis

Abasajja basatu abagambibwa okukuba ne battira omutuuze mu bbaala, bakwatiddwa poliisi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abasajja basatu abagambibwa okukuba ne battira omutuuze mu bbaala, bakwatiddwa poliisi. 

Bino bibadde ku kyalo Buduma mu muluka gw'e Bumwena mu Ggombolola y'e Malongo mu disitulikiti y'e Mayuge, bwebasse Rose Bakita 58.

Bakita, abadde mutuuze w'e Kayanja era nga basembye okumulaba n'abasajja mu bbaala kyokka enkeera ne basanga mulambo ku mabbali g'oluguudo. 

Abakwatiddwa kuliko Wilberforce Ddombo 53, Vincent Batambuze 63 bombi nga batuuze b'e Buduma mu muluka gw 'e Bumwena. 

Omulala akwatiddwa ye Dan Mawuno 28 ng'abeera Bukulu. 

Omwogezi wa poliisi mu Busuga East, Micheal Kasadha, agambye nti omugenzi yasembye kulabibwako mu bbaala ya Ddombo nga banywa, kyokka enkeera basanze mulambo.