AKAKIIKO k’ebyokulonda kafulumizza amateeka amakakali agagenda okugobererwa abeesimbyewo ku Bwapulezidenti nga banoonya obululu.
Abantu 8 ne baasunsuddwa okuvuganya okuli; Yoweri Kaguta Museveni (NRM), Joseph Mabiriizi (CP), Mugisha Muntu (ANT), Robert Kyagulanyi Ssentamu (NUP), Nandala Mafabi (FDC), Robert Kasibante (National Peasants Party), Mubarak Munyagwa (Common Man’s Party) ne Frank Bulira Kabinga (Revolutionary People’s Party).
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama, yalabudde abeesimbyewo obuteetantala kukuba kampeyini ng’olwa September 29, 2025 terunnatuuka era n’asuubiza okutegeka akalulu akalimu amazima n’obwenkanya.
Okunoonya obululu kujja kutandika mu butongole okuva September 29, 2025 okutuuka January 12, 2026.
Akakiiko kagenda kumala kutuuza bonna abeesimbyewo bakkaanye ku bifo n’ennaku mwe bagenda okukubira kampeyini. Tewali akkirizibwa kukuba nkung’aana mu bifo ebirimu abantu abangi nga obutale, enguudo, okuliraana amasomero n’amalwaliro ng’ekigendererwa kya kwewala kutaataaganya bantu balala abakola ebyabwe.
Kabangali z’abakuumi ezaaweereddwa abavuganya tezirina kutambuza beesimbyewo wadde omuntu omulala yenna.
Abaserikale abakuumi balina okukuumaamaka g’eyeesimbyewo n’okubeera mu buli kifo gy’alaga nga bw’aba ayagadde. Si buvunaanyizibwa bw’avuganya okuwa abakuumi ebiragiro ebikwata ku kye balina okukola.
Agenda okutegeka olukiiko alina okusooka okutegeeza poliisi ekifo ne bakirambula eran ne bakakasa nga kiri mu mbeera etataataaganya balala.
Tewali akkirizibwa kunoonya bululu kusukka ssaawa 12:00 ez’olweggulo era anaakwatibwa waakubonerezebwa.
Buli eyeesimbyewo alina okulaga akakiiko emikutu gy’amawulire gy’agenda okutambulako n’ennaku kwagendera era n’omukutu ne gulaga nti mwetegefu okumukyaza. Eyeesimbyewo ng’anoonya obululu akkirizibwa kukozesa lulimi lukuma mu bantu muliro, olutabangula emirembe oba okukunga abalala nga basiga obukyayi mu madiini n’amawanga.
Okuggyako ng’avuganya alina olukusa olw’enjawulo nga Pulezidenti, abavuganya tebateekeddwa kweyambisa bintu bya Gavumenti nga emmotoka okunoonya obululu.
Ebikolwa by’okugulirira abalonzi nga babawa ssente oba ebirabo mu ngeri y’okubasendasenda okulonda omuntu tebikkirizibwa mu kiseera ky’okunoonya obululu. Bwe gukusinga osibwa emyaka esatu oba okusasula 1,440,000/-.
Kyokka etteeka terikwata muntu agabula ebyokulya n’okunywa mu nkiiko eziteekateeka kampeyini.
Kyokka akakiiko kaasuubizza nga bwe kajja okufulumya amateeka amalala nga bamaze okusisinkana abeesimbyewo ne bakkaanya ku bifo n’ennaku ze bagenda okunoonyezaamu obululu.
Ebikwata ku beesimbyewo abatamanyiddwa nnyo mu bantu
ELTON JOSEPH MABIRIIZI Mabiriizi yinginiya wa byamasannyalaze era nga Paasita eyeesimbiddewo
ku tiketi ya CP. Yasooka okwesimbawo mu 2016 nga talina kibiina n’afuna obululu, 24,498 nga bye bitundu 0.25 ku buli 100. Ku bantu omunaana abaavuganya ye yasemba.
Yasuubizza nga bw’agenda okuleeta obukulembeze obulimu okusonyiwagana era nga k’abeere mukulembeze w’eggwanga aliko tajja kuvunaanibwa musango gwonna. Mu nnaku 100 ezinasooka nga ye Pulezidenti agenda kuyimbula bodaboda zonna ezizze zikwatibwa mu bikwekweto bya poliisi ebyenjawulo.
ROBERT KASIBANTE 37 Kasibante nzaalwa y’e Busujju mu disitulikiti y’e
Mityana nga ye nnannyini ttendekero lya Victory School of Beauty and Hospitality
Management e Nateete. Yeesimbiddewo ku kaadi ya National Peasants Party. Amanyiddwa mu kutendeka emirimu gy’omu mutwe. Yasooka kulaga bw’ayagala obubaka bwa Palamenti ng’akiikirira Busujju, kyokka yamaze n’abivaamu n’ajja ku Bwapulezidenti.
FRANK BULIRA KABINGA 43
Musomesa wa siniya eyazaalibwa e Kasubi mu Kampala, yeesimbiddewo ku kaadi ya Revolutionary Peoples Party. Yasomera Kasubi C/U Primary School, Mengo SS ne Old
Kampala SS nga diguli yagifunira Kyambogo University.
MUBARAK MUNYAGWA 46,
Yazaalibwa mu kitundu ky’Obugwanjuba bwa Uganda era ng’amanyiddwa nnyo nga
‘Mugaati gwa bata’. Alina diguli mu byamateeka okuva ku yunivasite e Makerere.
Yaliko mmeeya w’e Kawempe era n’omubaka wa Kawempe South kutiketi ya FDC. Ebyobufuzi yabitandikira mu kuwagira Alhaji Nasser Ntege Sebaggala nga yeesimbyewo ku bwammeeya bwa Kampala. Yeesimbiddewo ku kaadi y’ekibiina kya Common Man’s Party.