Bya Navvuga Peace
Minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizanyo Janet Kataaha Museveni asambazze ebibungesebwa ku mikutu gy'amawulire ku kyokuggulawo amasomero n'ategeeza nga gavumenti bwetannaba kufulumya binagobererwa okuggulawo amasomero .
Abyogedde nga ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by'emikono ekya Uganda Business and Technical Examinations Board kifulumya ebyava mu bigezo bya 2020 e Ntinda
Cr 1(2)
Omukolo gw'okufulumya ebyava mu bigezo byabayizi abasoma amasomo g’ebyemikono gubadde ku kitebe kyekitongole kya Uganda Business and Technical Examinations Board gwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egyenjawulo nga bakulembeddwamu Minister avunanyizibwa ku amatendekero aga waggulu JC Muyingo akiikilidde Minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo Jannet Kataha Museveni.
Onesmus Oyesige Ssaabawandiise wa UBTEB asinzidde ku mukolo guno neyebaza gavumenti okubakwasizako okulaba nga baumbula amasomo g’ebyemikono mu ggwanga.
Ategeezezza nga bwe batuuza abaana abasoba mu mutwalo gumu mu kakaaga ku ddaala lya Certificate ne Diploma nga kubana abawala babadde enkumi nya mu lusanvu asatu mu bbiri nga abalenzi babade omutwalo gumu mu lukumi mu bina kumi nabbiri.
Ategezeza nga abaana ab’obuwala bakoze bulungi okusinga ab’obulenzi kyokka nga ku mulundu guno
Okugwa kwebigezo bino akwesigamiza ku kirwadde kya Covid 19 ,ebbula lyensimbi mu bazadde okusobola okumalayo ebisale byamasomero .
Dr.Silver Mugisha Ssentebe w’olukiiko olufuzi ategezeza nga bwe basobodde okutta emikago egyenjawulo egiluubilirwamu okutumbula ebyemikono mu ggwanga.

Cr 1(2)
Asabye gavument okwongera okubawa ssente mu kitongole kino okwongera okuddukanya emirimu gyakyo kubanga kyakosebwa ekirwadde kya Covid 19 .
Minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo mu bubaka bwe obumwetikiddwa Minister w’amatendekero aga waggulu J.C Muyingo yebaziza ekitongole kya UBTEB olw’okubangula n’okutumbula eby’emikono mu ggwanga.
Asabye banna Uganda okwettanira amasomo g’ebyemikono kubanga omwana afuluma akuguse mu kyasoma okwawukana nabagenda mu university abalindilira okubakozesa.
Alabudde abayizi abenyigira mu muzze gw’okukoppa ebigezo kubanga bafuluma bakiboggwe .
Minister Museveni asambaze ebibungesebwa ku mikutu gyamawulire ku kyokuggulawo amasomero nategeeza nga gavumenti bwetanaba kufulumya binagobererwa okuggulawo amasomero