Wadde Omulamuzi Grace Wakhooli owa Kkooti e Masaka abadde amaze okutuula mu budde ku ssaawa 3:00 ez’oku makya, omusango bwe gubadde gulina okutandika, ebyuma bikyalemereddwa okukwatagana n’abasibe okuli abali e Kitalya, kw’ossa n’ababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana abali mu kkomera e Kigo.

Kkompyuta eraga ebifaananyi nga bwe yalabise ng'eraga terina neetiwaaka
Omulamuzi Wakhooli ayimirizzaamu okuwulira kuno okuwa omwagaanya abavunaanyizibwa ku tekinologiya okutereeza ebyuma wabula we ziweredde ssaawa 5:00 n’eddakiika 20 nga bikyagaanye.

Ebifaananyi ebyasoose okulabika
Balooya b’ababaka abavunaanyizibwa abakulembeddwa Shamim Malende nabo baabadde weebali nga bakyasobeddwa.


Omulamuzi Grace Wakhooli