Amawulire

Male Mabiriizi abadde asuubira okumuyimbula bamugguddeko emisango emirala n'atabuka

EBYA munnamateka Male Mabiriizi bikyalanda oluvannyuma lwa kkooti okumuggyako emisango gyabadde awerennemba n'agyo ne bamuggulako emirala.

Male Mabiriizi ng'ali mu kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

EBYA munnamateka Male Mabiriizi bikyalanda oluvannyuma lwa kkooti okumuggyako emisango gyabadde awerennemba n'agyo ne bamuggulako emirala.

Bino webigidde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka lwasabye kkooti okuggyawo emisango egibadde gyaggulwa ku Mabiriizi.

Birivumbuka yawadde ensonga n'ategeeza omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Ritah Neumbe Kidasa nti okusinziira ku tteeka erifuga enkozesa y'ebyuma bi kalimagezi eryasaziddwamu kkooti etaputa ssemateeka oludda oluwabi lwasazeewo okuggyayo enta mu musango guno nga batekesa mu nkola ebyasaliddwawo kkooti.

Omulamuzi yakkirizza okusaba kwabwe era emisango nagiggyawo era kino kyaleese akamwenyu ku matama ga Mabiriizi, wabula nga nakatayi tekannasala ono bazeemu nebayita fayiro y'emisango emipya ekintu ekimuggye mu mbeera natandika okuyisinganya ebigambo n'omulamuzi.

Male Mabiriizi ng'ali mu kkooti

Male Mabiriizi ng'ali mu kkooti

Wabaddewo okusikangana omuguwa nga Mabiriizi asaba kkooti okumuwa obudde asooke yerowoze oba nga ddala mwetegefu okusomebwa emisango gyabadde tamanyiiko mayitire.

Omulamuzi yagenze mu maaso n'okumusomera emisango emipya era nga emisango ebiri egisooka kigambibwa nti mu January wa 2026 mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo okuli disitulikiti ye Kampala ne Wakiso yafulumya amawulire amakyamu ng'ayita ku mukutu gwe ogwa TikTok mu mannya ga @Male.Mabirizi, yasasaanya obubaka mweyategereza nti Ssabalamuzi w'eggwanga Dr Flavian Zeija mufere era muli wanguzi n'ebirala.

Ono teyakoma ku Ssabalamuzi wabula yawalampa omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana nga agamba nti mufere era mubbi ekitali kituufu.

Omusango ogw'okusatu ogumuguddwako gwakuddukanya mukutu gwampuliziganya ogwa TikTok mu mannya ga @male.mabirizi nga talina biwandiiko ebimukkiriza kuddukanya mukutu gwa TikTok kuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku kulondoonda nokulambika ebigenda ku mpewo kubyempuliziganya ki UCC.

Mabiriizi bwabuuziddwa oba nga gino yagizza nategeeza nti simwetegefu kukkiriza oba okugaana kuba nga omulamuzi yagaana okwesonyiwa okuva mu musango gye nga akimanyi bulungi balina embiranye era nti kkooti terina lukusa luwulira misango gimuguddwako era nti tegirina njawulo nagimugiddwako.

Ebyo byonna omulamuzi tabifuddeko era omusango agwongeddeyo okutuusa nga April 15, okuwa ensala ye ku Mabiriizi byawakanyizza.