Amawulire

Tekinologiya wa zoom afuuse omuziziko mu kuwulira omusango gw'abaakwatibwa ku by'ebijambiya e Masaka

ENKOLA ya Tekinologiya eya Zoom ekyalemesezza okuwulira omusango gw’abantu abaakwatibwa ku by’ebijambiya mu kkooti e Masaka.

Tekinologiya wa zoom afuuse omuziziko mu kuwulira omusango gw'abaakwatibwa ku by'ebijambiya e Masaka
By: John Bosco Mulyowa, Journalists @New Vision

Wadde Omulamuzi Grace Wakhooli owa Kkooti e Masaka abadde amaze okutuula mu budde ku ssaawa 3:00 ez’oku makya,  omusango bwe gubadde gulina okutandika, ebyuma bikyalemereddwa okukwatagana n’abasibe okuli abali e Kitalya, kw’ossa n’ababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana abali mu kkomera e Kigo.

Kkompyuta eraga ebifaananyi nga bwe yalabise ng'eraga terina neetiwaaka

Kkompyuta eraga ebifaananyi nga bwe yalabise ng'eraga terina neetiwaaka

Omulamuzi Wakhooli ayimirizzaamu okuwulira kuno okuwa omwagaanya abavunaanyizibwa ku tekinologiya okutereeza ebyuma wabula we ziweredde ssaawa  5:00 n’eddakiika 20 nga bikyagaanye.

Ebifaananyi ebyasoose okulabika

Ebifaananyi ebyasoose okulabika

Balooya b’ababaka  abavunaanyizibwa abakulembeddwa Shamim Malende nabo baabadde weebali nga bakyasobeddwa.

Omulamuzi Grace Wakhooli

Omulamuzi Grace Wakhooli

 

Tags:
Amawulire