Paasita Manjeri atabuse ne bba lwa bwenzi
Oct 13, 2021
PAASITA Irene Manjeri atabuse ne bba gw’amaze naye emyaka 27 mu bufumbo! Manjeri alumiriza bba okuzaala abaana basatu mu bakazi basatu ab’enjawulo!

NewVision Reporter
@NewVision
Manjeri ye musumba w’Ekkanisa ya Bethel Healing Center awaali Pride Theatre era alina n’ettabi eddala e Katovu – Kajjansi awali n’amaka g’abaana bakateeyamba b’alabirira.
Yagattibwa ne bba Vincent Katongole mu 1994 era nga n’omwami oluvannyuma yafuuka Paasita.
Kigambibwa nti baatandika okufuna obutakwatagana mu bufumbo bwabwe emyaka 10 egiyise nga Manjeri atandise okuteebereza bba okwenda.
Manjeri ne Katongole baasisinkana mu Amerika era n’embaga gye baagikolera.
Baazaalirayo abaana basatu okuli n’abalongo, kyokka oluvannyuma baakomawo mu Uganda ne batandika okutambuza emirimu gy’enjiri bombi.
Abaana baabaleka mu Amerika gye basomera era bombi batera okugendayo okulaba ku baana, bemikwano n’okubuulira enjiri.
EBY’AMAKA OKUTABUKA ASOOSE KUBITEGEEZA BAKADDE BA KKANISA
Obubaka bw’okutabuka kw’obufumbo bwa Manjeri ne bba bwasoose kutegeezebwa ku bakadde b’Ekkanisa.
Kigambibwa nti Manjeri yennyini ye yabaweerezza obubaka ng’agamba nti: Saagala mubiwulire mu hhambo; kye nvudde nsalawo okubategeezaako ku bizibu ebiriwo.
Obubaka obutegeeza abakadde b’Ekkanisa ku bizibu ebiriwo, Manjeri yabuweerezza asinziira California mu Amerika gye yagenze wiiki ewedde mu lukuhhaana mwe yayitiddwa okubuulira enjiri.
Yabuyisizza ku mukutu gwa WhatsApp era omusango ng’aguteeka ku bba.
Mu kiseera kye kimu ne bba ali mu Amerika kyokka ate ye ali mu ssaza Alabama era kigambibwa nti Manjeri ne bwe yagenze mu Amerika, tewali mpuliziganya ne bba; buli omu ali ku bibye!
Mu kiseera kino, ekibagatta kiri kimu; abaana abasatu be baazaala okuli omulenzi omukulu ow’emyaka 26 n’abalongo ab’emyaka 21 nga kati bali mu yunivasite mu Amerika.
Bukedde yayogeddeko ne Manjeri ku mukutu gwa WhatsApp okukakasa obubaka obwabadde buweerezeddwa abakadde b’Ekkanisa era n’ayanukula nti:
Kituufu nga bwe mubiwulidde, naye saagala kwogera bingi kubanga tulina abaana ate bakulu bategeera ebigenda mu maaso.
Yayongeddeko nti, “Wakati mu kutabuka kw’obufumbo bwaffe, ate tulina okusigala nga twewa ekitiibwa, ku lw’obulungi bw’abaana baffe.”
No Comment