Omwoleso gw'ebyobuzimbi n'ebyawaka gugguse

OMWOLESO gw’oku mutimbagano ogukwata ku by’okuzimba n’ebyawaka, ‘The virtual Homes & Construction Expo’ kujja kulagibwa okuva nga November 22, ku Mmande okutuuka nga November 26 ku Lwokutaano

Omwoleso gw'ebyobuzimbi n'ebyawaka gugguse
By Grace Namatovu
Journalists @New Vision
#Amawulire

Guno era gujja kulagibwa wakati w’essaawa 3:00 ez’oku makya ppaka ssaawa 5:00 ez’okumakya ku ttivi za Vision Group zonna omukaaga , ku app ya  New Vision ate guwagibwe empapula ne leediyo mu kukutuusaako ebikulu ebinaabaawo.

Vaidya Rupesh, maneja w'abakitunzi ku Tile Centre ne Don Wanyama, akulira Vision Group

Vaidya Rupesh, maneja w'abakitunzi ku Tile Centre ne Don Wanyama, akulira Vision Group

Omwoleso guno gujja kukung’aanyiza wamu abakulu mu katale kano ak’ebyokuzimba. Sekita ezimu ezigenda okubaamu kuliko aba Real Estate developers / Agents,  eby’embalirira n’ensimbi, kkampuni z’ebyettaka n’ezisiga ensimbi,  eby’amasannyalaze, n'amazzi.

Catherine Tamale akulira bakitunzi ku Comfort Homes

Catherine Tamale akulira bakitunzi ku Comfort Homes

Mu birala mulimu amafumbiro, ebinaabiro, okusiiga langi, okuzimba n’ebizimbisibwa, eby’okusereka, ebikozesebwa awaka, yinsuwa, Eby’amaanyi g’enjuba, ebintu ebikolebwa mu nkokoto, okuwunda munda w’ennyumba yo, eby’obukuumi n’obutebenkevu.

Ebyabadde mu kutongoza omwoleso guno ku kitebe

Ebyabadde mu kutongoza omwoleso guno ku kitebe

Omwoleso gugenda kuwa omwagaanya abantu okulaga ebintu ebipya n’ebitutumufu ku katale. Abakugu bajja kukyazibwa era bannyonnyole mu buziba ku bintu ebiyindira mu sekita eno. Omwoleso guno gusuubirwa okulabibwa abantu abali mu bukadde 22.

Fiona Tamale, (mu masiki ya bbulu) akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group

Fiona Tamale, (mu masiki ya bbulu) akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group

Philemon Mubiru akulira bakitunzi mu kkampuni ya Hima Cement

Philemon Mubiru akulira bakitunzi mu kkampuni ya Hima Cement

(Ebifaananyi bya Ismail Mulangwa)