Mmengo ne Pasita Kayanja batongozza pulaani y’okuzzaawo ennyanja ya Kabaka

OMUSUMBA w’Ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja agugumbuddeKCCA ku mbeera embi ennyanja ya Kabaka gy’erimu, ne yeebazaMmengo okukkiriza okukolagana naye okugizzaawo

Pasita Kayanja ng’alaga abakulembeze pulaani y’ennyanja. Ku kkono y’akulira KCCA Hajjati Buzeki, addiridde Kayanja ku ddyo ye Kitooke (minisita w’amawulire e Mmengo), Lukwago, Minisita wa Kampala Hajj
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUSUMBA w’Ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja agugumbuddeKCCA ku mbeera embi ennyanja ya Kabaka gy’erimu, ne yeebaza
Mmengo okukkiriza okukolagana naye okugizzaawo.
“Eno y’ennyanja yokka erina amazzi mu kibuga era esobola okututaasa ku muliro singa
gukwata mu Kampala ng’eteekeddwa okutaasibwa era omuntu yenna agizannyirako Gavumenti erina kumukwasa maanyi,’’ Bino Kayanja yabitegeezezza akulira
KCCA, Hajjati Sharifah Buzeki nga yabyogeredde ku St. Lawrence University ku mukolo gw’okutongoza pulaani y’engeri ennyanja ya Kabaka gy’egenda okufaananamu
oluvannyuma lw’okuddaabirizibwa.
Yagambye nti mukoka abadde ava mu luguudo ne yeesogga ennyanja, y’abadde agireetera okujjula nti era singa tebataasa nnyanja eno baba beetadde omuguwa mu bulago n’asaba abakulembeze okuva mu Gavumenti ne KCCA okukakasa pulaani y’ennyanja eno, omulimu gutandikirewo.
Yategeezezza nti ne bwe banaalongoosa ennyanja ng’abantu bonna abeetooloddewo tebalina kaabuyonjo, tebalina we bakungaanyiza kasasiro, kujja kuba kumala budde kuba bano enkuba bw’etonnya, bata kazambi n’ayingira butereevu mu nnyanja n’asaba
KCCA obutaddamu kubawa lukusa lwa kukola nga tebalina bifo we bakuumira kasasiro waabwe.
Yagambye nti obunafu buli wakati w’abamenyi b’amateeka ne KCCA n’asaba Loodi mmeeya okutaasa Kampala. Yabeebazizza olw’okubbula oluguudo olukoleddwa erinnya lye n’abasaba obutamala gatuuma nguudo mannya gatalina nsibuko.
Kayanja yategeezezza nti ennyanja egenda kuddayo ku bugazi bwayo bwa yiika 64 kuba abantu bajja beesenzaako ne bagifunza. Yaakubeerako essengejjero ly’amazzi, abantu we bakolera dduyiro, ekkuumiro ly’ebyafaayo, okuzzaako ebizinga byayo ebina ebyaliko, wooteeri ez’omulembe, abaana we bazannyira n’ebifo ebisanyukirwamu eby’omulembe.
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku by’amawulire, Israel Kitooke eyakiikiridde Katikkiro yategeezezza nti ennyanja eno ya byafaayo eyasimibwa emikono ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga II ng’alina essuubi ly’okugiyitirako okutuuka e Munyonyo ng’awungula eryato, ekitaasoboka. Yagambye nti ebinyonyi ebiriko tebisangika walala wonna era baagala okuzzaawo ekitiibwa kyayo ne yeebaza Paasita Kayanja olw’okukolagana n’Obwakabaka okutuukiriza omulimu guno