Poliisi ekoze ekikwekweto e Kololo okuyigga abakyusizza ebyapa bya Dr Ssemugenyi

BAMBEGA ba poliisi bakoze ekikwekweeto okufuuza abagambibwa okukyusa ebyapa ku nnyumba ez'ebbeeyi  ezipangisibwa  e Kololo ne bazeekomya.

Poliisi ekoze ekikwekweto e Kololo okuyigga abakyusizza ebyapa bya Dr Ssemugenyi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kololo #Dr Ssemugenyi

BAMBEGA ba poliisi bakoze ekikwekweeto okufuuza abagambibwa okukyusa ebyapa ku nnyumba ez'ebbeeyi  ezipangisibwa  e Kololo ne bazeekomya.

Kino kiddiridde munnabulaaya Dr. Denis Daniel Ssemugenyi okugulawo omusango nga yeemulugunya nti ebyapa ku nnyumba ze ezisoba mu nnya e Kololo baabikyusa n’abapangisa be yali ataddemu ne babagobamu.

Ebikwekweto byatandise ku Lwokubiri ku nnyumba eziyitibwa Hill Top Residency e Kololo era bikyagenda mu maaso n'okuyigga abateeberezebwa okuba mu lukwe..

Abaserikale baagenze ne baaza ennyumba nga banoonya agambibwa okuzigula kyokka baasanzeemu mupangisa (amannya gasirikiddwa) gwe baakutte nga bagamba nti agenda kubayambako okubatuusa ku mugagga David Kenneth Numembi eyawandiisibwa mu byapa.

Poliisi ng'ekola okunoonyereza

Poliisi ng'ekola okunoonyereza

Wabula omupagisa yabagambye nti ye talina ky'amanyi, yasasula nnannyini nnyumba ddoola 6,000 okumupangisa.

Bambega ba poliisi eggulo baayongedde okunoonyereza ku nnyumba endala era ebikwekweto bikyagenda mu maaso omuli n’amakaage..

Ku Nyumba zino Dr. Ssemugenyi bamuguzaako ennyumba emu gattako ennyumba endala mu bifo ebirala mu Kololo nga zonna zibalirirwamu ensimbi obuwumbi bubiri n’obukadde 400 kyokka kigambibwa zonna baazikyusizza ebyapa  bazitwale.

Dr. Ssemugenyi yalaze ebifaananyi by’omugagga agambibwa okugula ennyumba ze nnya mu bifo ebyenjawulo e Kololo nga yazaalibwa mu 1993 era ng’alina emyaka 22 egy'obukulu ne yeewunya!! . Yakebedde NIN nnamba eri mu mannya ago ne yeewuunya nti waliwo abanene mu ggwanga abalabika nga be bali emabega w'okwagala okwezza ennyumba ze .

Dr Ssemugenyi

Dr Ssemugenyi

Dr. Ssemugenyi okutandika okufuna ebizibu mu by’obugagga bye yali aweerera baana abasoba mu 1,000 abatalina mwasirizi mu ggwanga ne batandika okumunoonyerezaako era akawunti ze kwe yali ayisa ssente ne baziggalira mu bbanka ya dfcu.

Wiiki ewedde Dr. Ssemugenyi yamezze omusango , omulamuzi  wa kkooti Enkulu, Isaac Muwata n'alagira bbanka ya  dfcu eggulewo akawunti ze zonna addemu ayambe abaana.

Kyamuweddeko yagenze okuwulira nti ate ennyumba ze 4 mu Kololo baazitwaala dda nti n'ebyapa biri  mu mannya malala .

Ku Lunaku lwe lumu omusango lwe gwasalibwa waliwo abantu abenjawulo abaagenda ne bafulumya abapangisabe ne bakyusa n’eminyolo  nga bagamba nti ezo ennyumba tezikyali za Dr. Ssemugenyi be bannanyini zo.

Yeewunyizza nti mu naku 10, baakyusa ebyapa bye emirundi essatu ate ne babitwala ne mu bbanka emu n'asaba kinoonyerezebweko.

Omwogezi wa poliisi atwaala Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti banoonyereza oba waliwo obumenyi bw'amateeka obwakolebwa ku byapa era bambega banoonyereza.

Omu ku bakozi mu kkampuni za Dr. Ssemugenyi ayitibwa Richard Ssemakula yagambye nti banoonyereza oba waliwo eyabba ebyapa bya Dr. byonna mu nnyumba ze ezisoba mu musanvu nga kuliko n’amaka ne babikyusa mu bukyamu era bambega bagenda kuyigga buli eyali mu lukwe olwo nti n'abamu baabaggalira dda, n'agamba nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso.