Bano bagamba nti kuno kubeera kubabba kubanga ku ludda lw’e Kenya bwe baba tebabasasuza lwaki ab’e Uganda babasaba ssente ennyingi bwe zityo. Balumiriza abakebera COVID e Uganda okugaana bannaabwe ab’e Kenya bye bakebedde nga baagala okuddamu okubakebera kyokka ng’ebyuma bye babafumita mu nnyindo bibakosa.
Kino kireseewo emirimu okusannyalala ng’abagoba ba lukululana bagaanyi okuyingira mu Uganda ng’era ekibangirizi kya custom kijjudde n’endala ne bazisimba ku luguudo ne zimalawo kumpi kilomita 60. N’ebibangirizi okuli ekya No Man's Land ne Northern Corridor byonna bijjudde lukululana.

Ba Ddereeva Ba Lukululana Nga Bakedde Okwoota Omusana
Akediimo kano kakutte ssabbiiti bbiri ekireetedde n’ekitongole ekisolooza emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) okufiirwa emisolo kubanga Malaba olunaku bakola ku lukululana 1300 buli lunaku naye kati tewali kye bakola ate baddereeva balayidde obutayingira mu Uganda okuggyako ng’ensonga zaabwe zigonjoddwa.
Ssentebe wa LC3 mu Town Council y’e Malaba, Mugisha Andrew yagambye nti akediimo kano kakosezza emirimu mingi ng’ebitundu 80% mu Malaba bayimiriddewo ku lukululana zino. Abakoseddwa kuliko: abafumba emmere, aba loogi, abawanyisa ssente n’abalala ng’ate tekikomye ku bano naye n’amafuta geeyongedde okulinnya nga kati liita eri wakati wa 4700/- ne 5000/-.

Ddereeva Wa Lukululana Nga Anaaza Essowaani
Basabye minisita w’ensonga za East Africa, Rebecca Kadaga ayingire mu nsonga eno kubanga n’eggwanga ligenda mu maaso okufiirwa emisolo ate abantu tebakyakola.
Era n’embeera eri e Busia nayo teyawukana n’eri e Malaba. Wabula abakebera COVID mu Uganda ku nsalo e Malaba bagaanyi okubaako kye boogera ku nsonga eno.