Amawulire

Agambibwa okufumita munne ekiso ekimusse ne yeewaana

ABATUUZE b’e Mutungo Zooni  III  baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’omutuuze  okufumita munne ekiso ekimutitddewo n’amala ne yeewaana.

Agambibwa okufumita munne ekiso ekimusse ne yeewaana
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

Bya Huzaima Kaweesa

ABATUUZE b’e Mutungo Zooni  III  baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’omutuuze  okufumita munne ekiso ekimutitddewo n’amala ne yeewaana.

Bino byabaddewo ku Ssande ku ssaawa 2:00 ez’oku makya omuvubuka eyategeerekeseeko erya Ojambo bwe yafumise munne   Alex Turyakira ekiso  ekyamuttiddewo.

Jostina  Nakasanje, jjajja w’omugenzi  ng’ era  y’abadde landiroodi wa Ojambo ategeezezza nti  abadde abeera ne muzzukulu we ono okuva ng’ akyali wa myaka ebiri oluvannyuma lwa bazadde be okufa kyokka kimukubye wala nti muzzukulu we afudde mu ngeri ey’entiisa.

Ategeezezza  nti  Ojambo abadde mupangisa we okumala ebbanga lya myezi ena era nga yali yasasula ennyumba ebbanga lya myezi esatu ng’ ayingira kyokka ssente z’amasannyalaze n’asasulako omwezi gumu ng’ okuva olwo abadde taddangamu kusasula.

Oluvannyuma lw’ebbanga lyeyali  asasulidde ennyumba okuggwako, Nakasanje  yasalawo okusala Ojambo ku masannyalaze olw’obutasasula era okuva n’olwo n’atandika okubeeyisizaako obubi.

Nakasanje agamba nti  ku makya ga Ssande yavudde awaka n’agenda okugula emmere y’enkoko nga Turyakira ali waka ne banne banywa caayi, Ojambo n’ajja n’asaba akasumuluzo ka taapu y’amazzi ne bamutegeeza nga bwekataliiwo nga wano baagenze okuddamu okumulaba ng’ azze n’ekiso.

Yazze n’ayingira mu nnyumba ng’ akutte ekiso era omu ku baana n’addukira mu kisenge ne yeggalira olwo Ojambo n’atandika okukoona  oluggi.

Oluvannyuma Turyakira yabuuzizza Ojambo lwaki yabadde akoona oluggi, Turyakira bwe yafulumye Ojambo yazze amugoberera  n’amufumita ekiso ekyamuttiddewo.

Waliwo omu ku booluganda lw’omugenzi (gw’abadde ayita kojja) eyamulabye ng’ amufumita ng’ ono yamubuuzizza ekimusizza omwana we n’agezezaako okumukwata kyokka naye n’ayagala okumufumita.

Oluvannyuma lwa Ojambo okufumita Turyakira yategeezezza nga guno bwegutali mulundi gwe ogusoose okutta omuntu era n’asuubiza okukikola n’abalala abamulemerako.

Oluvannyuma Ojambo  yakwatiddwa  n’atwalibwa ku poliisi ya Jinja Road n’omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa ng’ eno gye gwavudde ne guddizibwa ab’ennganda.

Oluvannyuma omulambo abaffamire baagututte e  Kiwawu ku lw’e Mityana okumuziika.

Abatuuze balaze okutya olw’embeera za Ojambo kyokka ne basaba aboobuyinza okumukangavvula n’omukono ogw’ekyuma kubanga embeera ze tezisaana mu bantu.

Kansala w’omu kitundu, Dick Mabaale asabye bannannyini mayumba okukola okunoonyereza okumala nga tebannaba kukkiriza bapangisa kutandika kubeera ku mayumba gaabwe.

Asabye n’abantu okufaayo okumanya abantu bonna abali mu kitundu n’asaba obukiiko bw’ekyalo okuddamu okuttukiza okuwandiisa abatuuuze bonna mu  kitundu.

 

Tags:
Amufumise
ekiso