OMUDUUMUZI wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano omuggya, ACP Ezekiel Emitu ayingidde ofiisi n’aweebewa ebiragiro okulwanyisa obubinja bw’abamenyi b’amateeka obutadde Kampala n’emiriraano ku bunkenke.
Eggulo, Emitu yakwasiddwa ofiisi ng’adda mu bigere bya Richard Ecega ng’omukolo gwetabiddwaako akulira ebikwekweto mu Poliisi, Frank Mwesigwa. Mwesigwa yategeezezza nti, ekibuga Kampala kirina okubeera ekitebenkevu kuba gwe mutima gw’eggwanga n’amugamba essira alisse ku kulwanyisa obumenyi bw’amateeka ng’awa abaserikale ebiragiro okumaamira ebifo ebimanyiddwa omuli obubinja bw’abamenyi b’amateeka.
ETTEMU E BULOBA
OMWANA Fred Bwooye 12, bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi. Ettemu lino libadde Buloba mu disitulikiti y'e Kamuli. Omugenzi abadde mutuuze w'e Butansi mu disitulikiti y'e Buyende era kigambibwa nti, yasembye okulabwako ku pikipiki ng’ali ne David ow'emyaka 25. David mutuuze w'e Mukoka mu muluka gw'e Mpakitoni mu Ggombolola y'e Bulopa. Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega agambye nti, omulambo bagusanzeeko ebiwundu eby’ebiso. Baagututte mu ddwaaliro lya Kamuli General Hospital okugwekebejja nga bwe bayigga omutemu.
ASSE BBA E MASAKA
POLIISI e Masaka eyigga omukazi agambibwa okufumita bba ekiso n'amutta. Vincent Mirembe 38, ow’e Mizinga mu Kitengeesa Ward mu divizoni y’e Nyendo - Mukungwe e Masaka ye yattiddwa. Abadde avuga booda ku siteegi ya Agip mu kibuga Masaka. Omwogezi wa Poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agambye nti, mwannyina w'omugenzi, Ritah Nakiruuta ye yategeezezza aba ffamire ne poliisi, Vincent n'addusibwa mu ddwaaliro e Masaka gy'afiiridde. Agasseeko nti, omulambo baagwekebezze ne baguwa abooluganda okuziika nga bwe bayigga mukyala we.
BAKUTTE SSENTEBE E NATEETE
POLIISI e Nateete ekutte Ssentebe wa LC1 n'abantu abalala babiri nga bagambibwa okukuba omusajja ow'emyaka 63 ppeeva ku mutwe. Byabaddewo nga January 15, bwe baakubye Polly Kibirige Ssekiranda ow'e Kitebi Cell e Mutundwe mu Lubaga, ne bamuleka ng'azirise. Ono yabadde adda waka ng'ava okulonda ku Kitebi P/S era abazirakisa baamuddusizza ku Kitebi Family Clinic and Medical Centre gye yaggyiddwa ne bamwongerayo e Mulago gy’ajjanjabirwa. Poliisi eggulo yakutte Henry Kasule 66, nga ye ssentebe wa LC I e Kitebi Cell, Furik Seviiri ne Andrew Kitega Kyemwa 50 nga naye w'e Kitebi.
BABAKUTTE LWA KUNYWA NJAGA
ABAVUBUKA bana abagambibwa okunywera enjaga waggulu ku kizimbe e Busega, poliisi e Nateete ebakutte. Bano kuliko Shafik Kasozi, Godwin Nasasira, Mike Talemwa ne Wilson Nabasa. Kigambibwa nti, babasanze n'emisokoto gy'enjaga. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti e Bweyogerere mu Central Zooni ne Wellspring Zooni nayo bakozeeyo ekikwekweto, ne bakwata 18 n’agamba nti bakyagenda mu maaso n’okufuuza abamenyi b’amateeka.
AKWATIDDWA KU BY’OBUTEMU
OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba, okutemula n'okutulugunya abantu, poliisi emukutte. Grace Nabeeta amanyiddwa nga FBI Escobar, y’akwatiddwa nga bamulumiriza okutta Richard Batabane ow'e Kiwafu, Ntebe. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti, bakyamubuulirizaako.