Amawulire

RCC wa Kampala afuumudde ab'amasannyalaze Group mu Katale ka St Balikuddembe

RCC wa Kampala Umar luke Mayiwa alagidde kkampuni ya masannyalaze group ebadde esolooza amasanyalaze mu katale ka Owino okwamuka akatale ako oluvannyuma lw'okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde 215 eza UEDCL.   

RCC wa Kampala Umar Mayiwa ng'ayogera eri abasuubuzi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Badru Mugenyi 

RCC wa Kampala Umar luke Mayiwa alagidde kkampuni ya masannyalaze group ebadde esolooza amasannyalaze mu katale ka Owino okwamuka akatale ako oluvannyuma lw'okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde 215 eza UEDCL.

Ono okwogera bino abadde asisinkanye abasuubuzi mu lukiiko olukubiddwa wakati mu katale abasuubuzi mwe bamusindidde ennaku masannyalaze group gye batuusizzaako omuli n’okulinyisa ebisale by'amasannyalaze buli we baagalira.

Tags: