Mmisa y’okusabira omubiri gw’eyaliko omubaka wa palamenti owa Busiro South, Charles Matovu ebadde mu kisaawe ky’omupiira ku kyalo Nkungulatale mu tawuni kkanso y’e Kajjansi mu bitundu eby’e Ntebe.

Namwandu wa Matovu(alina masiki) ng'assaako ekimuli ku ssanduuke okusiibula bba.

Bafuutu sooja nga bakoze eggaali okuziyiza Opio okuva mu mmotoka ye.
Fr. Ssewanyana mu ngeri yeemu awanjagidde abakungubazi okukomya obukambwe kubanga tebuyamba kuzimba bantu, wabula batwale ekifaananyi kya Matovu.
Kyokka wabaddewo katemba atali musasulire, abamu ku bagambibwa okubeera bana NRM bwe babadde bazze okukungubagirako abooluganda abako n'abeemikwano kyokka abawagizi ba NUP ne babagoba.

Aba NUP nga bafubutula mmotoka eyabaddemu Opio
Wakati ng'ekitambiro kigenda mu maaso, wabaluseewo obunkenke era amasasi gavuze nga kino kivudde ku Kenan Opio (abadde attunka ne Matovu ku gw’okulonda mu busiro south) abadde azze naye okukungubaga bwe bamufubutudde agende ne bakola n’eggaali era mu mmotoka tavuddeemu n’asimbula n’agenda ng’eno bwe bamuwereekereza ebigambo ebisongovu.