Amawulire

Mao awadde essuubi ebibiina ebyagala okuyingira IPOD

PULEZIDENTI wa DP, Norbert Mao awadde essuubi ebibiina by’ebyobufuzi ebitannayingira mukago gwa IPOD nti bagenda kubaga ekiwandiiko bakisindikire abakulembeze b’ebibiina abitaliiwo basseeko emikono basobole okuyingira omukago guno bwe baba nga tebasobola kubeerawo mu buntu mu ttabamiruka.

Mao bwe yabadde ayogerako eri abaamawulire ne bannakibiina banne mu DP.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI wa DP, Norbert Mao awadde essuubi ebibiina by’ebyobufuzi ebitannayingira mukago gwa IPOD nti bagenda kubaga ekiwandiiko bakisindikire abakulembeze b’ebibiina abitaliiwo basseeko emikono basobole okuyingira omukago guno bwe baba nga tebasobola kubeerawo mu buntu mu ttabamiruka.
Yannyonnyodde nti abateesiteesi abakulu mu biibina okuli; NUP, ANT ne PFF bakkiriza dda okuyingira IPOD naye babadde balinda bapulezidenti b’ebibiina ebyo okujja mu buntu ekikeereyesezza enteekateeka y’okubanyingiza.

Yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe ky’ekibiina kino ku Balintuma Road n’agamba nti ayagala omukulembeze wa NUP ali ebweru w’eggwanga wamu n’owa PFF ali mu kkomera basse omukono ku mpapula kuba ayagala banne bwe bali ku ludda oluvuganya bayingire omukago guno bamanye ebirungi ebigulimu era baveemu akakunkuna nti bw’oyingira IPOD obeera oyingidde NRM.
Yagambye nti enteekateeka eno egenda kwenyigirwamu ne pulezidenti w’eggwanga naye kye batagenda kukkiriza ye mukulembeze w’ekibiina okugamba nti akiikirirwe kuba mu maaso eyo ayinza okwekyusa nti ekibiina kye bakiyingiza mu bukyamu.
Mao yasimbidde ekkuuli enteekateeka ya Gavumenti mw’eyagalira okuwera okufumbisa amanda nti egipapidde nnyo ate nga mpaawo kye yaakoze okusomesa wamu n’okuwa Bannayuganda ebintu ebirala bye basobola okufumbisa mu kifo ky’amanda.
Yeewuunyizza Gavumenti okwagala okussa mu nkola ekintu ky’emanyi nti tekisoboka okuggyako ng’eyagala Bannayuganda kubassa njala.
Yawadde amagezi nti Gavumenti ekkirize abantu okutandika okusimba ebibira nga byo byakuvaamu manda gokka n’asaba eweeyo n’abantu emyaka 3 beeteeketeeke nga nayo bw’ebasomesa ku bifumbisibwa ebirala kuba kati abantu ebasuddeko busuuzi enteekateeka eno nga tebeetegese

Tags: