OMUJAASI w'eggye lya UPDF agambibwa okweyambisa kompyuta n'akozesa olukujjukujju okufuna ssente obukadde obusuka mu 500 asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Richard Kaserebe 33, ku Lw'okussatu lwa wiiki eno yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi ku kkooti ya City Hall neyewozaako mu musango guno.
Wabula buli luvannyuma lwa myezi esatu yawebwanga oluwummula ku mulimu gwe n'agenda e Kamuli olw'emirimu egy'enjawulo gyalinayo okuli edduuka, saluuni bbiri n'ennyumba gyeyali azimbayo
Wabula lunaku lumu bweyali ku nnyumba gyazimba e Kamuli, abasajja bana baamukwata nebamuteeka mu mmotoka yaabwe oluvanyuma beyategeera nti baali baserikale ba "flying squad"
Oluvannyuma lw'eddakiika 30 mu mmotoka abasajja baamutiisatiisa okumutta bwalemererwa okubagamba ssente gyeziri
Omuwawaabirwa yatwalibwa ku maka g'e Kamuli nebatandika okugakebera oba bafuna obujulizi bwona eno gyebagwira ku bukadde 70 wabula yabategeeza nti ezo yazifuna okuva mu looni gyeyafuna okuva mu wazalendo ne bizinensi ze nti naye olw'okutya yazibawa nebazitwala oluvannyuma natwalibwa ku poliisi
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Mercy Yamangusho Khaidara, lwategeezeza nti kigambibwa wakati wa June 15 ne October 15 2025 Richard Kaserebe omujaasi wa UPDF wansi wa Tokora operation unit omutuuze mu zzooni ya Lufulandizi e Kamuli n'abalala abakyanonyezebwa yeyambisa kompyuta nafuna obukadde 539,107,520 mu lukujukuju ssente eza clinic pesa Ltd
Omulamuzi Nicholas Aisu omusango yagwongezaayo okutuusa nga November 25, 2026 okwongera okuwulira obujulizi mu musango guno