MINISTULE y’ebyettaka ettadewo amateeka amakakali ku kufulumya ebyapa ebiyitibwa ‘Special Certificate of Title’ .

Nabakooba Ng'annyonnyola.
Amateeka gano okujja kiddiridde Gavumenti okuggya envumbo eyali yateekebwa ku kugaba ebyapa ekika kino emaze ebbanga ery’emyezi 2 okuva nga 14 August 2026.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala, Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba yannyonnyodde nti, baafuna okwemulugunya nti, ebyapa ebimu bitudde ku binnaabyo, obufere buyitiridde mu by’ettaka nga bannannyini byapa abatuufu oluusi bibabbibwako mu ngeri ey’olukujjukujju so ng’ate era n’emivuyo gyeyongedde mu kugaba ebintu by’abafu.
AMATEEKA AMAPYA
l Omuntu yenna kasita ateekamu okusaba ‘Special Certificate ‘ ey’ekyapa, abakungu okuva mu ofiisi ya gavumenti ey’ebyettaka okuli abapunta n’abawandiisi bajja kuba bateekeddwa okutuuka ku ttaka lino balyekkaanye bulungi era bakakasize ddala nti teririiko bantu wadde enkaayana.
l Bassentebe b’ebyalo bajja kuba bateekeddwa okuteekanga obupande ku ttaka obulaga nti, waliwo eyataddemu okusaba ‘Special Certificate’ ey’ekyapa eky’ettaka eryo kiyambeko abayinza okuba n’okwemulugunya okuvaayo nga bukyali.
l Ku mulundi guno abakulembeze b’akakiiko ak’ekyalo bonna 5 bajja kuba bateekeddwa okutuula okukola lipooti eraga ebikwata ku ttaka omuntu yenna ly’ayagala okufunirako ‘Special Certificate’ ey’ekyapa.
l Minisitule y’ebyettaka nga tennafulumya satifikeeti y’ekyapa kyonna buli mwezi bajja kusooka bateekenga okulanga mu mpapula z’amawulire nga balaga amannya gaabo abaagala ebyapa bino era nga amannya ge gamu gajja kusaasaanyizibwanga ku magombolola n’ebyalo awali ettaka eryo.
l Omuwandiisi (registrar ) owa ministule y’ebyettaka nga tannafulumya saatifiketi y’ekyapa kino ateekeddwa okusooka okumatirira ddala nti, ebyetaagisa ebituufu byonna bimuweereddwa ebikwata ku ttaka eryo.
l Gwe alina satifikeeti y’ekyapa kyo nga emmese zaagirya, yayulika oba ng’ekaddiye nnyo nga oyagala empya oteekedwa okugenda n’enkadde basobole okukolera endala.
l Gwe ayagala ekyapa kino era oteekeddwa okusooka okujjuza ffoomu 3, okuleeta ekiwandiiko okuva mu bannamateeka ekiraga nti, olina obwetaavu wamu ne lisiiti eziraga nti, osasudde omusolo gwa gavumenti okugoba ku by’ekyapa kino