Amawulire

Omusuubuzi agambibwa okulimba poliisi ng'abazigu bwe bamunyazeeko obukadde obusoba mu 4 akwatiddwa ne banne abalala 2!

OMUSAJJA omusuubuzi agambibwa okulimba poliisi ng'abazigu bwe bamunyazeeko ensimbi 4,700,000/-,  poliisi emukutte ne banne abalala babiri.

Omusuubuzi agambibwa okulimba poliisi ng'abazigu bwe bamunyazeeko obukadde obusoba mu 4 akwatiddwa ne banne abalala 2!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA omusuubuzi agambibwa okulimba poliisi ng'abazigu bwe bamunyazeeko ensimbi 4,700,000/-,  poliisi emukutte ne banne abalala babiri.

 

Waiswa Kayerera Mawazi, y'akuumirwa  e Iganga ku poliisi, ku musango gw'okuwa poliisi amawulire ag’obulimba n'okuwuddiisa poliisi.

Waiswa gwe baakutte.

Waiswa gwe baakutte.

Bino byabaddewo nga October 18 ng'ono atambulira mu Isuzu Elf nnamba UA 717BN bwe yalimbye nti abasajja bana nga batambulira mu mmotoka ekika kya RAV 4  baamufumbikirizza ne bamunyagako ssente ezo.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, annyonnyodde nti baakoze okunoonyereza nga beeyambisa ne kkamera za CCTV era nti emmotoka eyogerwako tebaagirabyeko ng'eyita mu bitundu ebyo e Iganga.

Omulala gwe baamukutte naye.

Omulala gwe baamukutte naye.

Era baakizudde nti emmotoka eyogerwako n'obudde obwo ,yabadde mu kitundu ky’e Busei  Nakalama kwe kumukunya n'ayogera amazima nti bwabadde bulimba olw'obutakkaanya bwe yabadde nabwo ne babbulooka ku ssente akakadde kamu n’emitwalo 40 ze baabadde balina okugabana ku mmotoka gye baatunze.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Iganga
Waiswa Kayerera Mawazi