Amawulire

Balaajanidde Museveni ku misolo egyassibwa ku bizimbisibwa ebiyingira Kenya

BANNAMAKOLERO abali mu bizinensi y'ebizimbisibwa bawanjagidde Pulezidenti Museveni ayogeraganye ne bakulu banne bwe beegattira mu mukago gwa East Africa babakendeereze ku misolo n'obukwakkulizo ebyassibwa ku bizisimbiwa bwe biba nga byakutundibwa mu mawanga ago.

Edwin Abaasa omukwanaganya w'emirimu mu kkampuni ya Roofings bweyabadde alambuza bannamawulire ebyuma ebipya ebikozesa tekinologiya owa waggulu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAMAKOLERO abali mu bizinensi y'ebizimbisibwa bawanjagidde Pulezidenti Museveni ayogeraganye ne bakulu banne bwe beegattira mu mukago gwa East Africa babakendeereze ku misolo n'obukwakkulizo ebyassibwa ku bizisimbiwa bwe biba nga byakutundibwa mu mawanga ago.

 

Okuvaayo ne beekubira enduulu kiddiridde eggwanga lya Kenya okubinika omusolo ku bintu ebizimbisibwa okuva mu Uganda ne Tanzania .

 

Omukwanaganya w'emirimu mu kkampuni ya Roofings, Edwin Abaasa bwe yabadde alambuza bannamawulire ekkolero lyabwe e Namanve yategeezezza nti omusolo Kenya gwe yateeka ku bizimbisibwa okuva e Uganda gwabakosaamu era tebakyetayizaayo bulungi nga bwe kyali luli.

 

 

Olw'okuba nti omukago gw'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika guluubiriddwamu okutumbula ebyensuubulagana basabye abakulu mu mawanga gano bongere okwogeraganya baggyewo emiziziko gino .

 

Mu ngeri yeemu bo nga aba kkampuni ya Roofings bongedde tekinologiya mu nkola yaabwe ey'emirimu ekintu ekyongedde omutindo ku bintu bye bakola .

 

Pulezidenti Museveni gye buvuddeko yatongoza  ekyuma ekipya ekya Roofings ekikola amabaati n'ebizimbizisibwa nga kino kyeyambisa tekinologiya amanyiddwa nga 'Danieli' nga kino kye kisookedde ddala wano ku lukalu lwa Afrika.

 

Tags: