OLUVANNYUMA lw'obubbi bw'okuteega abasuubuzi mu kitundu kya Busoga East ne babanyagako ssente ku mudumu gw'emmundu, basindiseeyo abaserikale ba poliisi abawerako, okulawuna enguudo.

Abaserikale be baataddeko okulawuna
Gye buvuddeko, ababbi ab'emmundu nga bali mu byambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi n'obujaketi obw'ekitongole ky'abawooza omusolo ( URA) babbye abakozi ba BIDCO obukadde obusoba mu 58 . Ate era waliwo abakozi ba Kumbucha be baateega ne babanyagako obukadde obusoba mu 5.
Abaserikale bassiddwa ku nguudo okuli Jinja - Iganga highway, Iganga - Bugweri, Iganga- Kaliro, Iganga - Namutumba ne Musita- Namayingo wamu ne mu bubuga obw'enjawulo ne mu bifo ebikyamu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abasuubuzi n'abantu ssekinnoomu, basaana okubeera n'amasimu g'abaddukanya poliisi ez'enjawulo, okusobola okuyambibwa nga wabaddewo obuzibu.