MINISITA avunanyizibwa ku by'amawulire , tekinologiya n'okulungamya eggwanga Justine Kasule Lumumba alagidde eyali omwogezi wa ministule y'ebyentambula Suzan Kataike okuva mu ofiisi bunnambiro oba sikyo waakukangavvulwa .
Oluvannyuma lw'okugaana okufuluma ofiisi yagenda mu maaso n’ajulira eri ministule y'ebyamawulire wabula nga kati minista amwanukude n’amusaba agifulume awe omwagaanya eyamuddidde mu bigere Khadijja Nakakande okutandika okukakkalabya emirimu gye .
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala Lumumba yakuutidde Kataike agondere amateeka bw’atyo nalabula abakozi ba gavumenti abamu abagufudde omuze okweremeza nga mu ma ofiisi nga bakyusiddwa nti kye bakola kikyamu era baakukwatibwa ku nkoona.