Amawulire

Aba NRM batandise okukunga ab’e Busoga

ABA NRM babakanye n’okukunga ab’e Busoga okubazzaamu amaanyi n’okuzuula ekyavaako Pulezidenti okukola obubi mu kalulu ka 20021.

Aba NRM batandise okukunga ab’e Busoga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABA NRM babakanye n’okukunga ab’e Busoga okubazzaamu amaanyi n’okuzuula ekyavaako Pulezidenti okukola obubi mu kalulu ka 20021.

Ttiimu eri ku mulimu guno ekulembeddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Dr. Tanga Odoi.

Enkiiko zaatandikidde Kamuli, ng’amyuka ssentebe wa NRM mu Buvanjuba, Capt. Mike Mukula yeetondedde Busoga esonyiwe NRM ne Museveni. “Mmanyi mulina ebyabanyiiza, wabula ku lw’ekibiina, nneetonda era tusuubiza okugonjoola ebibanyiga,” Mukula bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti kyakuba wala NRM okulaba ng’e Busoga eva Rebecca Kadaga, eyali Ssaabawandiisi Justine Lumumba, minisita Isaac Musumba, Daudi Migereko n’ebikonge ebirala yavaayo obululu ng’obwo.

Tags: