KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze abalimi n'abalunzi okusitula omutindo gw'ebyo byebakola lwebajja okubifunamu.
Mayiga agamba nti ekimu ku binayamba abali mu mirimu gino okusituka, kwe kweyambisa ebyuma naddala mu bulimi okuli ebyo ebisiga, okukungula ate n'okufukirira ebirime.

Obed Ben ng'alaga Katikkiro Mayiga ezimu ku tulakita zebakozesa mu bulimi
Okwogera bino Katikkiro Mayiga yabadde alambula faamu abavubuka abeegattira mu kibiina ekiyitibwa Youth Platform Africa (YPA) kwebalundira embuzi ng'eno eri ku kyalo Nakitembe mu ggombolola ye Maddu mu ssaza lye Gomba nga bazirunda mu ngeri y'obwegassi ate n'okulundira abalala ne babawa amagoba.

Obed Ben ng'alaga Katikkiro Mayiga ezimu ku tulakita zebakozesa mu bulimi
Hajj Amisi Kakomo nga ye Minisita wa Buganda avunanyizibwa ku bulimi n'obulunzi yeebazizza YPA olw'okufuula obulunzi bw'embuzi kati omulimu oguyayanirwa ng'oli ayagala okufuna ssente , alima na kulunda.

Katikkiro Mayiga nga yetegereza emu ku tulakita
Ye akulira YPA, Obed Ben yalambululidde Katikkiro Mayiga n'abagenyi be entandikwa yaabwe ate n'enkola y'emirimu gyayogeddeko nti ya bwesimbu abalese mu kisaawe ky'okuwa abalunzi amagezi ag'ekikugu ku faamu zaabwe kati emyaka egisoba mu 18.

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku muwandiisi ow'enkalakalira mu minisitule ey'ekikula ky'abantu mu Uganda, Aggrey Kibenge naye eyeetabye ku mukolo guno
Omuwandiisi ow'enkalakalira mu mimisitule y'ekikulu ky'abantu omuli abavubuka, Aggrey Kibenge yeebazizza Katikkiro Mayiga olw'obubaka bwaawa abavubuka ate n'obulala obusisimula abakulembera naawa eky'okulabirako nti ye obubaka obukunga abantu okulima emmwaanyi bwamuleetera naye okutandika okuzirima nga kati alina yiika 15 ez'emmwaanyi.