Amawulire

Poliisi ekutte bana ku by'okubba bbooda n'okutemula bannyini zo mu Kampala

ABANTU 4 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kikuba n'okutta aba bodaboda ne babanyagako pikipiki, mu Kampala n'emiriraano, poliisi ebakutte.

Poliisi ekutte bana ku by'okubba bbooda n'okutemula bannyini zo mu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 4 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kikuba n'okutta aba bodaboda ne babanyagako pikipiki, mu Kampala n'emiriraano, poliisi ebakutte.

Abakwatiddwa, kuliko Rastini Waiswa , Brian Kamuhangire, Frank Tumwebaze ne Stuart Waiswa, ng'ono aggyiddwa Mayuge .

Kigambibwa nti bano , babasanze ne pikipiki ezigambibwa okuba enzibe 17, kkaada zaazo 17 ne nnamba plates za pikipiki 25 n'ebyuma ebirala, ebigambibwa okubayamba mu kukyusa ebiwandiiko.

Kino kiddiridde ebigambibwa nti  ekibinja kino,  kyafumbiikirizza omuvuzi wa bodaboda e Kiwanga Nantabulirirwa mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono, ne babba pikipiki nnamba UMA 242 EM ne ssente nga Oct 7.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, pikipiki eyo, nayo bagisanze n'abasajja bano era okunoonyereza ,kugenda mu maaso.

Tags: