POLIISI y'ebidduka ekutte emmotoka za Taxi 47 ezibadde zitikkira ku luguudo lwa Nothernpass. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi y'ebidduka Kananura ategeezezza abagoba ba Taxi 12 batwaliddwa mu kkooti, ate Jusanvu ne bateebwa ku kakalu ka kkooti, ate abalala 28 baliira ku nsiko.
Kananula asabye bannanyini mmotoka okutwala emottoka zaabwe mu Garagi kuba ennaku 100 ezabaweebwa zaawedeko. Kananura agamba nti tebasuubira mmotoka zitatukagana na mutindo gwetaagisa ku sigala nga zisaabaza abantu ku ngudo.