EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga, kiyungudde abaserikale 600 n'abasikawutu 2,000, bayambeko mu kukuuma ebigezo by'abayizi ba S4 , ebitandise leero mu ssenta 4,314 okwetooloola eggwanga.
Omwogezi w'ekitongole kino, Jennifer Kalule Musamba, alabudde abo bonna abagezaako okwenyigira mu kubba , oba okubbira abayizi abigezo, nti baakukwatibwa bavunaanibwe.
Agasseeko nti okusinziira ku mateeka, omuntu bwe gumusinga, asobola okuliwa obukadde 40 oba okusibwa emyaka egitasussa 10 oba byombi.
Annyonnyodde nga bwe waliwo akabinja k'abantu abataddewo whats pp groups okubuzaabuza abayizi nga babalimba nti balina obusasi, n'abagamba nti basaana okuzivaamu amangu nga tebannakwatibwa.