Bya Donald Kiirya
SIPIIKA wa Palamenti Anita Among asabye abakulembeze mu Busoga okwongera okulwanirira eddembe ly’abaana naddala omwana ow’obuwala.
Sipiika Among yabyogeredde ku mukolo ogw’okusonda ssente z’okuzimba ekisulo ky’abayizi abawala eky’essomero lya Kaluuba High School e Malongo mu disitulikiti y’e Mayuge.
Gwategekeddwa omubaka wa Bunya South, Iddi Isabirye n’omubaka Moses Magogo (Budiope East). Minisita Justine Lumumba, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, ssentebe wa Uganda Muslim Supreme Council Polof. Muhamadi Lubega Kisambira, Omulabirizi wa Busoga, Paul Samson Naimanhye be bamu ku beetabye ku mukolo.
Among yasuubizza okugulira bassentebe b’ebyalo 201 obugaali nga waakubuyisa mu mubaka waabwe Isabirye. Yagumizza abavubi nga bwebatagenda kugobebwa ku nnyanja nga bakola omulimu gwabwe mu butuufu era baayisizza etteeka erikugira aba UPDF okukuba abavubi nga bali ku nnyanja.