Amawulire

'Mwongere okulwanirira eddembe ly’abawala'

SIPIIKA wa Palamenti Anita Among asabye abakulembeze mu Busoga okwongera okulwanirira eddembe ly’abaana naddala omwana ow’obuwala.

Sipiika Among (ku ddyo) ng’azina n’omubaka Rachael Magoola, Baroda Watongola, Justine Kasule Lumumba, Mo¬ses Magogo, Iddi Isabirye ne Bagiire ku mukolo e Mayuge.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Donald Kiirya

SIPIIKA wa Palamenti Anita Among asabye abakulembeze mu Busoga okwongera okulwanirira eddembe ly’abaana naddala omwana ow’obuwala.

Yagambye nti abaana bangi ab’obuwala tebafuna bwenkanya n’eddembe lyabwe ne lityoboolwa mu maka ng’abamu babafumbizza bakyali bato, tebatwalibwa mu masomero n’okufuna embuto nga bakyali bato ekisaanye okulwanyisibwa.

Sipiika Among yabyogeredde ku mukolo ogw’okusonda ssente z’okuzimba ekisulo ky’abayizi abawala eky’essomero lya Kaluuba High School e Malongo mu disitulikiti y’e Mayuge.

Gwategekeddwa omubaka wa Bunya South, Iddi Isabirye n’omubaka Moses Magogo (Budiope East). Minisita Justine Lumumba, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, ssentebe wa Uganda Muslim Supreme Council Polof. Muhamadi Lubega Kisambira, Omulabirizi wa Busoga, Paul Samson Naimanhye be bamu ku beetabye ku mukolo.

Sipiika yawaddeyo obukadde 20 ku lwa Palamenti, n’awaayo obukadde 20 ku lwa ffamire ye, omubaka Iddi Isabirye obukadde 20, Minisita Justine Kasule Lumumba obukadde 5, Mariam Naigaga (Mubaka Namutumba), Aggrey Bagiire (Bunya West) obukadde 5 ate ababaka abalala buli omu yawaddeyo ensimbi ezisoba mu kakadde.

Among yasuubizza okugulira bassentebe b’ebyalo 201 obugaali nga waakubuyisa mu mubaka waabwe Isabirye. Yagumizza abavubi nga bwebatagenda kugobebwa ku nnyanja nga bakola omulimu gwabwe mu butuufu era baayisizza etteeka erikugira aba UPDF okukuba abavubi nga bali ku nnyanja.

Tags:
okulwanirira
eddembe
abawala