Amawulire

Ogw'okukozesa essimu eteri yiye n'avvoola Muhoozi gumumezze

OMUYIZI wa yunivasite y'e Makerere era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, munnamateeka Aloikin Praise Opoloje asindikiddwa ku limanda e Luzira.

Praise Aloikin Apoloje
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIZI wa yunivasite y'e Makerere era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, munnamateeka Aloikin Praise Opoloje asindikiddwa ku limanda e Luzira.
Praise Aloikin Opoloje 27, omutuuze w'e Namungoona mu Kampala, yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Winnie Nankya Jatiko eyamusomedde omusango gw'okukozesa ennamba y'essimu eteri yiye mu bukyamu.

Kigambibwa nti, mu September wa 2026 ng'ali mu bitundu by'e Lubaga, yakozesa ennamba y'essimu eyali mu mannya ga Martha Nalapa Tasima n'ayisaako obubaka obuweebuula aduumira amagye ga Uganda, Gen. Muhoozi Kainerugaba ng'abuyisa ku mutimbagano.
Omusango yagwegaanyi wabula omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Allan Mucunguzi yasabye kkooti obudde okwongera okukola okunoonyereza.
Munnamateeka wa Aloikin, Kakuru Tumusiime yasabye kkooti ebaweeyo obudde okuteeka ebiwandiiko ebisaba okweyimirirwa ku mukutu gwa ECCMIS oba okuyimirizaamu basobole okusaba okweyimirira.
Munne wa Opoloje, Agatha Atuhaire yagambye nti, baamuyodde ng'agenze ku poliisi ku misango gy'okukaayanira ekiwempe ekizungu ne munne nga kigambibwa nti babadde baamunoonya dda.
Omuvunaanwa yaweebwako engule y'okulwanirira eddembe ly'obuntu okuva mu kibiina kya European Union’s Human Rights Defenders Award mu 2025.
Bino we bijjidde, nga waliwo n'abantu abalala abazze bavunaanibwa okukozesa obubi emitimbagano n'abakyayiggibwa nga Fred Mumbuye, Badru Matyaba omuwagizi wa NUP agambibwa okukola emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe.
Guddamu nga October 14, 2026.

Tags: