Amawulire

Nameere ayombye nga bamuwozesa

ABALAMUZI mu Kkooti Enkulu ez’enjawulo bakyagenda mu maaso okuwulira emisango gy’obululu.

Nameere
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABALAMUZI mu Kkooti Enkulu ez’enjawulo bakyagenda mu maaso okuwulira emisango gy’obululu.
NAMEERE ALIDDE MATEREKE NE LOOYA WA NALUBOWA

Minisita era omubaka omukyala owa Masaka City, Justine Nameere, yeegaanye eby’okukyusa ebyava mu kubala obululu n’ategeeza nti omulamuzi Abert Asiimwe ye yaddamu okubala obululu era y’avunaanyizibwa.
Nameere yali asuubirwa okujja mu kkooti mu buntu kyokka oluvannyuma n’ategeeza nga bw’agenda ebweru w’eggwanga ng’ennaku ezaaweebwa tajja kubaawo naye nga mwetegefu okuwoleza ku mutimbagano.
Ng’asinziira ku lutimbe mwe yabadde alabibwa obulungi bonna abali mu kkooti, munnamateeka wa Nalubowa, Samuel Muyizzi yasoose kumugamba annyonnyole kkooti engeri obululu gye bwaddamu okubalibwa n’alangirirwa ku buwanguzi ng’ate bookisi zaali zitaataaganyiziddwa.
Nameere yalowoozesezza abaabaddewo nti ebibuuzo bimumezze olw’engeri obwedda gy’abyebalamamu era embeera yatabuse n’awaanyisiganya ne Muyizzi ebigambo ekyawawalirizza omulamuzi Bernard Namanya okumukomako ayanukule ebibuuzo kyokka engeri gye yabadde ayanukulamu, yatabudde omulamuzi n’asooka amuwummuzaamu yeetereeze.
Muyizzi ebya Nameere okwecanga tebyamugaanyi kumwongera bibuuzo nga naye bw’atabuka ekyawalirizza omulamuzi okuwummuzaamu kkooti.
Omulamuzi bakira akoma ku Nameere ayanukule ebimubuuzibwa naye nga tawuliriza ekyawalirizza bannamateeka be okuli Sam Ssekyewa okumusaba nti bajja kufuna akaseera atangaaze ku by’atazzeemu bulungi.
Mu bibuuzo, Nameere bye yeebalamye engeri okubala gye kwakolebwamu n’engeri bookisi 9 ebyavaamu okusuulibwa n’ebita-balibwa n’ate-geeza nti bino byakolebwa Asiimwe nga omulamuzi.
Omujulizi owookubiri ye yakuliramu ebyokulonda Enock Atugonza naye yabadde ku mutimbaggano kyokka yagambye nti ebyaliwo byamuweebwa ng’okubala obululu kuwedde era takyajjukira mutuufu yabimugamba kuba teyafuna alipoota okuggyako satifikeeti eyalangirirwako Nameere.
MUSISI AMEZZE KANANURA
MU KITUNDU EKISOOKA
Daniel Kananura bye yassaamu ng’ennaku 30 eziweebwa ssemateeka ziweddeko kkooti ebogobye. Kananura (NRM) awakanya obuwanguzi bwa George Musisi (NUP) ku ky’omubaka wa munisipaali y’e Kira. Omulamuzi George Okello yagambye nti Kananura yasooka n’assaamu empaaba ye mu budde kyokka oluvannyuma n’ayongera okussaamu ebirala ng’akola ennongoosereza ng’ate obudde bwali buweddeyo.

Tags: