Mmeeya wa munispaali y’e Makindye Yasin Omar akukkulimidde ekitongole ekiramuzi okuleeta abalamuzi okuva mu bitundu awalala okuwulira emisango gy’ebyokulonda mu Makindye.

Meeya Yasin Omar n'omwogezi w'essiga eddamuzi Mawanda
Agambye nti omu ku balamuzi baali mu kkooti n’abasekerera ,era kino kyamuluma nnyo.
Ate ow’ensonga z’ekikula ky’abantu ku lukiiko lwa kkanso y’e Makindye Maureen Kyomugisha yennyamidde olw’abasuubuzi abaakwatibwa olwempooza ne baleetebwa mu kkooti n’ebasindika mu kkomera ng’ate pulezidenti yawera obukulembeze bwa ssekinnoomu mu butale okusolooza abasuubuzi ssente.
Bino babibuulidde abakulu mu ssiga eddamuzi abeetabye ku lunaku lwa Open Court Day ku kkooti e Makindye.