OBUNKENKE bw’olutalo bweyongedde mu kyondo kya Buwarabu, oluvannyuma lwa Iran okwongera amaanyi mu kukola ennumba ku mmeeri z’amafuta ezigezaako okusalinkiriza mu kagolomolo, n’okukuba amawanga ga Buwarabu agaasenza America.

Engeri Iran Gye Yakoze Obulumbaganyi Ku Bahrain
Era eggulo, Iran yeewaanye nti waliwo emmeeri z’amafuta bbiri ezaabadde zisalinkiriza mu kagolomolo k’e Hormuz, ezaatomedde bbomu ze baatega mu mazzi ne zikwata omuliro.
Guno mulundi gwamusanvu mu wiiki bbiri eziyise, ng’emmeeri z’amafuta zitomera bbomu Iran ze yayiwa mu mazzi, ne zituntumuka omuliro.
Sipiika wa Palamenti ya Iran, Mohammad Baqer Qalibaf yagambye nti Iran eyongedde okukaluba ennyama okuva America bwe yabakolako obulumbaganyi, era tebagenda kukkiriza nteeseganya zonna, okutuusa nga America etadde mu nkola obukkwakkulizo musanvu bwe baagiwa.
Qalibaf yagambye nti kati beetegefu nnyo, America bweba eyagala kuteesa weebali, era bweba eyagala lutalo weebali, kubanga beetegekedde buli mbeera.
Akagolomolo k’e Hormuz, Qalibaf yakikkaatirizza nti kakyali kaggale, okutuusa nga America ekomezza olutalo lwayo lwe yabaggulako.
Bamasinale ba Iran abasinziira e Yemen, aba Houthi nabo bongedde okukola ennumba ku ggwanga lya Saudi Arabia, era eggulo amagye ag’omukago agakuuma Saudi Arabia, gaakubye Drone bbiri aba Houthi ze baabadde basindise okukuba ekibuga Mecca.
Gavumenti y’e Yemen emanyiddwa ekibiina ky’amawanga amagatte, yalaajanidde amawanga mu nsi yonna okugiyamba okusigguukulula aba Houthi abaawamba akagolomolo ka Babal-Mandeb Strait, nga nako kayitamu amafuta n’ebintu ebirala.
Eggulo minisita w’ensonga ez’ebweru mu America, Marco Rubio yagambye nti Iran kye kizibu ekinene ekiri mu kyondo kya Buwarabu, kubanga buli awali obutabanguko erinawo omukono.
Yalabudde nti ensi singa tesitukiramu kukomya jjoogo lya Iran, buli omu wakuloza ku bwanalukalala bwayo singa enaafuna bbomu ya nukiriya gy’eri mu kuzimba.