BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okukuuma obutonde bw'ensi n'okukuuma eby'obulamu nga bakozesa entambula ez'omulembe ezitavaamu mikka emikyamu okwonoona obutonde bw'ensi.

Bino abyogedde ng'akwasa omuwanguzi w'emisinde kiromita 42, Leonard Chemonges egyali e Kasese nga August 22, 2026 pikipiki empya ekozesa amasannyalaze emuyambeko mu mirimu gye ate era mu ngeri eraga Bannayuganda Engeri gye basobola okukozesamu ebidduka ebikozesa Amasanyalaze okukuuma obutonde bwensi.
Kino nga kigguddewo n'enkolagana wakati w'abategesi b'emisinde gya Mt Rwenzori Marathon egibeera e Kasese nekkampuni ya Spiro.

Amos Wekesa akulira emisinde gino yategeezezza nti enkolagana wakati w'ebitongole byonna mu Uganda naddala mu misinde gino eruubiriddwamu okusobola okusitula ebitone bya Bannayuganda wamu n'okusobola okuwa abavubuka abato emirimu.