Minisita wa Science, tekinologiya n’okuvumbula (science, technology and innovation) mu ofiisi ya pulezidenti, Hon Jonard Asiimwe Akiiki, akubirizza abasomye okukozesa amagezi gebafunye okutandikawo emirimu okusinga okuginoonya.
Abyogeredde ku mukolo gw’okutikkira abayizi abasobye mu 800 ku univasite ya ISBAT, ku matikkira gaabwe ag’omulundi gw’e 19, agabadde ku woteeri ya Africana mu Kampala gyabadde omugenyi omukulu.

Minisita wa ICT Jonard Asiimwe Akiiki ng'ayogera eri abatikkiddwa
Minisita Asiimwe asinzidde wano n’akubiriza abatikkiddwa okuteekawo emikisa okuyamba abalala nga bakozesa obukugu bwebafunye okutandikawo emirimu, n’okugonjoola ebizibu by’ebitundu gyebabeera nga bakozesa amagezi ago kyagambye nti kirimu ssente ezisinga zebanoonya mu kukozesebwa.

Pulofeesa Ezra Suruma
Yeebazizza ssentebe w’olukiiko lw’abatandiksi ba ISBAT Varghese Mundamattam, olw’okuleeta ekirowoozo kya univasite eno gyagambye nti kati ekwatidde eggwanga omumuli mu bya saayansi ne tekinologiyakyagambye nti kyakuteeka ettofaali ddene ku nkulaakulana y’eggwanga.
Cansala wa univasite eno Hon. Fred Jachan Omach ategeezezza nti ISBAT kati ekutte omumuli mu ggwanga ne East Africa mu ya saayansi ne tekinologiya, nasaba abatikkiddwa okukozesa obulungi amagezi gebafunye ku ISBAT okuzimba eggwanga lyabwe.

Abayizi abatikkiddwa diguli ez'okubiri ku ISBAT univasite
Akulira eby’omutindo (Director of Quality Assurance and Accreditation) mu Kakiiko keby’enjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher Education Dr. Vincent Aloysius Ssembatya, yeebazizza ISBAT okuleeta amasomo ga PhD zaagambye nti zeetaagibwa nyo mu ggwanga lyaffe, kubanga lyetaaga abakugu okutuuka ku nkulaakulana ey’omuggundu.
Pulofeesa Ezra Suruma eyaliko minisita webyenfuna mu ggwanga, asabye bannayuganda abavubuka okwenyigira butereevu mu tekinologiya kubanga kati ensi kwetambulira, bamukozese okutumbula eggwanga lyabwe, wabula nabalabula okumukozesa obulungi.

cansala Hon Fred Jacan Omach ng'atikkira omu ku bayizi eyafunye diguli ya PhD
Ssentebe w’abatandisi ba ISBAT univasite Varghese Mundamattam yeebazizza abazadde obuwagizi, n’ategeeza nti ISBAT nga Chartered univasite, bakyayogera okubangula bannayuganda mu masomo ag’enjawulo naddala mu saayansi ne tekinologiya, bizinensi n’ebirala.
Omulundi ogusookedde ddala, ISBAT etikidde abayizi 4 abakuguse mu by’okunoonyereza nebafuna diguli za PhD okuli; Ronald Ssemanda, James Stephen Kawuki, Thilak Kumar Devaraj ne Emmanuel Latim nebafuna ekitiibwa kya Dokita.

omuyizi Ronald Ssemanda wakati eyafunye PhD ku ddyo ye Dr Giju Paul
Abayizi abasobye mu 100 nabo bafunye diguli ez’okubiri mu masomo ag’enjawulo, abalala nebatikkirwa diguli zaabwe ezisoose omubadde nabafunye dipulooma mu masomo ag’enjawulo.