Amawulire

‘Ebika mubiddukanye ku mutindo oguliwo’

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti engeri ebika gye birina okutambuzibwa ku mulembe guno, erina okukyuka etuukane n’embeera eriwo, lwebijja okusigala nga byamugaso eri abazzukkulu.

Katikkiro Mayiga ( ku ddyo) ng’aliko by’ayogerezeganya n’omukulu w’ekika ky’Omutima Omuyanja, Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti engeri ebika gye birina okutambuzibwa ku mulembe guno, erina okukyuka etuukane n’embeera eriwo, lwebijja okusigala nga byamugaso eri abazzukkulu.
Yagambye, ebika tebikyasobola kufaanana nga bwe byali ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro wabula birina okwekwata enkola empya etambuzibwako emirimu mu nsi.

Okwogera bino, yabadde yeegasse ku mukulu w’ekika ky’Omutima Omuyanja Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende n’abazzukkulu mu Kika kino okulambula omulimu gw’okuzimba ofiisi z’ekika kino ezisangibwa e Mutundwe- Lubaga mu Kampala.
Yagambye nti, engeri ebika gye bitambuzibwamu erina okukyuka nga y’ensonga lwaki baasalawo okuzimba ekizimbe kino.
“Kikulu nnyo ebika mu Buganda kino bikitegeere, abazimba ebitebe nga ffe babizimbe, abakulaakulanya obutaka babukulaakulanye, abaleeta enteekateeka ey’okuzimba Ebika bagireete. Noolwekyo enteekateeka eno okugiwulira mu Bika kirungi era Ebika byonna mbikuutira okugitwala mu maaso,” Mayiga bwe yayogedde ku Lwomukaaga.
Omulimu gw’okuzimba ofiisi y’Ekika kino gwetaaga akawumbi k’ensimbi kalamba okumalirizibwa ng’omwezi gwa August omwaka ogujja nga tegunnayita.
Katikkiro yasabye abeddira Omutima okukolera awamu okumaliriza omulimu guno n’abakunga nti bwe guggwa, bakole pulojekiti endala.
Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende akulira Ekika kino yawadde Ebika amagezi, bwe biba bikola enteekateeka z’okwekulaakulanya biteeke ssente mu pulojekiti ezirina obusobozi bw’okuzaazaamu ssente ezo.
Omukung’aanya w’Olupapula lwa Bukedde era nga ye Mwogezi w’Ekika ky’Omutima Omuyanja, Michael Mukasa Ssebbowa yeebazizza Aboomutima abawaddeyo ssente ku mulimu guno ate n’akunga abatannawaayo okuwagira enteekateeka eno.
Josephine Nakakeeto Masagazi nga ye mumyuka w’omuwandiisi w’Ekika yalambuludde engeri ssente ezaakasondebwa bwe zizze zikozesebwa nga mu kiseera kino omulimu gwakasaasaanyizibwako obukadde 136 ate mu nsawo balinawo obukadde 34. Ensimbi zonna ezikasondebwa yagambye nti ziri obukadde 280. Omulimu guno gwatandikibwa mu August era Mayiga nga ye Ssentebe w’olukiiko oluzimba ofiisi zino, yawa ekirowoozo buli mwezi ab’ekika bakungaane, balambule ebibeera bikoleddwa

Tags: