ENG’ANO kirime ekyettanirwa kumpi mu nsi yonna, wano mu Uganda abalimi baayo basangibwa mu Town Council y’e Chemini mu disitulikiti ya Kween balaajana lwa bagibagulako okubadondola ne batuuka n’okugitundira ku nnimiro (okutunda ekimuli), nga oluusi abagibagulako mu mbeera eno bava Kenya.
Mu kitundu kino, balima ebirime eby’enjawulo okuli; obummonde, amatooke, omuwemba, kasooli n’eng’ano wabula abagirima bakyali batono olw’embeera y’akatale ng’abasinga bakyatya okubagula ku layisi, kwe kusalawo ne balima ebirala.
Bano balaajanidde minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero, Sanjay Tana, okubayamba
abatuusize eddoboozi lyabwe eri gavumenti ebayambe ku nguudo ezitayitikamu olw’embeera embi gye zirimu nga bye balima bibakaluubiriza okutwala mu butale ekibaviirako abaguzi okubigulira ku misiri ku layisi ne kibasiba mu bwavu.
Bano okumutegeeza bino abadde abalambuddeko okulaba embeera gye balimu ssaako ebizibu bye bayitamu ne bibasoomooza naddala mu kulima engaano, era alambudde ne kyuuma ekyabaweebwa aba Nile Breweries okubayambako okukaza enngaano ne ebirime engeri ekitundu kino bwe kiri ekinnyogovu nga omusana mutono.
Ssentebe wa Kabuloroni TC, Damson Chemutai asiimye aba Nile Breweries okubawa ekifo we bakaliza eng’ano kubanga ekitundu kino kya bunnyogovu. Agamba nti, ekitundu kino kirimu abalimi ba kasooli, eng’ano, omuwemba ne muwogo, n’asaba gavumenti okubayamba ku kizibu kye balina eky’enguudo embi mu nsozi ate nga enkuba tesalako ekibaviirako okutambuza ebirime ku ndogoyi n’okubyetikka ku mitwe.
Abalimi b’eng’ano bagamba nti, ekizibu ekisinga okubanyiga y’ebbeeyi ddondolo gye babagulako ekivaako abalimi obutagyettanira. Minisita Sanjay Tana agamba nti, ayagala abalimi bettanire obwegassi basobole okuyambibwako ne gavumenti, ate batandike okutereka ku ssente kubanga omukono gwa gavumenti gukolagana n’abantu nga bali wamu.
Tana agamba nti, minisitule ye ng’eri wamu ne y’ebyobulimi bagenda kutandika ekikwekweto ku bantu abanoga ebirime ebitannatuuka nga babitundira ku nnimiro era waliwo n’abava mu nsi ezituliraanye nga bagula emisiri ne kivaako gavumenti okufiirizibwa ensimbi ssaako omutindo okuba ogw’ekiboggwe kubanga bakungula bitatuuse. Yagambye nti, gavumenti emaze okussaawo amateeka amakakali ku bantu abakungula ebito kubanga kigobesa ebirime bya Uganda ku katale olw’omutindo omubi.