KATIKKIRO Charles Peter Mayiga atongozza wiiki ya bulungibwansi ng'abadde mu katale e Mengo.
Kino kicamudde abasuubuzi abakolera mu katale kano ne bagamba nti k'azze okubakyalira, akatale kaabwe kaakwongera okukula.
Katikkiro yabakubirizza okusoosowaza obuyonjo ku mirimu gyabwe bwe baba baakutunda kuba abantu bettanira ebintu ebiyonjo.
Ssentebe w'abasuubuzi abakolera mu katale kano Benon Kalema yategeezezza nti okulabikako kwa Katikkiro kitegeeza nkulaakulana kuba ye muntu ayagala ebintu ebituukanye n'omulembe. Abasuubuzi abakolera mu katale kano baludde nga balaajana olw'embeera gye bakoleramu okuli; obujama n'okuba nti emidaala we bakolera egimu gitonnya.
Akulira ekitongole ekisolooza empooza mu butale bwa Kabaka ekya Rexba, Isaac Mpanga yategeezezza Katikkiro nti ebimu ku biremesezza akatale kanookugaziwa kwe kuba nti ettaka lyako lyava mu mikono gya munisipaali y'e Mengo okudda mu KCCA.
Yagambye nti, bakola ekisoboka okulizza mu mukono gyabwe olwo bazimbe akatale akatuukanye n'omutindo. Katikkiro yasabye abasuubuzi okukwatagana n'okuwuliriza okulambikibwa kw'ekitongole kya Rexba ekiddukanya obutale bwa Kabaka. Yasabye abantu obutamansa bucupa n'obuveera kubanga bizibikiza emidumu ekivaako amataba enkuba bw'etonnya.
Yakubirizza abantu okuyiga okukola okwekulaakulanya kuba n'Abaganda baakiraba nti, Obulangira bw'omunaku kwekolera kuba teriiyo mulimu gutakooya.Omukolo gwetabiddwaako minisita w'amawulire e Mmengo, Israel Kitooke, minisita wa Gavumenti z'ebitundu Joseph Kawuki n'abakungu abalala okuva e Mmengo.