Amawulire

Basonda kawumbi ez'ekizimbe ky'okujjukira Ssaabasumba Kiwanuka

OMUSUMBA w'e Masaka Serverous Jjumba asisinkanye Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ne bateesa ku nteekateeka z'okusonda ssente akawumbi kamu ez'okuzimba ekizimbe okunajjukirirwa omugenzi Ssaabasumba Dr. Joseph Nakabaale Kiwanuka, Omusumba eyasooka e Masaka.

Katikkiro Mayiga ne Bp. Jjumba nga bali mu kifaananyi n'olukiiko olunoonya ssente z'ekizimbe ekinabbulwamu Ssaabasumba Kiwanuka e Masaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUSUMBA w'e Masaka Serverous Jjumba asisinkanye Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ne bateesa ku nteekateeka z'okusonda ssente akawumbi kamu ez'okuzimba ekizimbe okunajjukirirwa omugenzi Ssaabasumba Dr. Joseph Nakabaale Kiwanuka, Omusumba eyasooka e Masaka.
Ekijjulo kitegekeddwa olwaleero ku Sheraton Hotel mu Kampala ng'Obusumba bw'e Masaka bwetaaga akawumbi kalamba ezeetaagibwa okuzimba "Archbishop Kiwanuka Empowerment Centre' okumpi ne Lutikko e Kitovu mu kibuga Masaka.

Katikkiro Mayiga yasinzidde mu kafubo ke n'Omusumba Jjumba n'akunga abantu okuwagira omulimu gwa Klezia guno nga baweereza ensimbi ku akawunti eyitibwa Masaka Diocese Cathedral, nnamba 3200668352 mu Centenary bank.
Omusumba Jjumba yagambye nti, baanokolayo ebintu bitaano ebinaabasobozesa okukuuma erinnya lya Ssaabasumba Kiwanuka okuli okutandikawo leediyo ng’eno yatandikibwa wamu n’essomero lya siniya eryabbulwa mu linnya e Kitovu, okuzza obuggya eddwaaliro ly’e Kitovu, okukulaakulanya ekifo ky’e Bulinda nga wano wagenda kuteekebwawo ekifo kya yintaneeti ne tekinologiya eby'omulembe, ate ne Archbishop Kiwanuka empowerment centre.
"Wagenda kubeerawo ekisenge awanaakung'aanira abantu; aboogera ku bufumbo nga boogerera wano. Twafunye omukisa nti waliwo ekitongole ekyatuwadde kompyuta okuteekawo ekyalo kya yintaneeti n'ebirala ebigenda okubeera ku kizimbe kino," Bp. Jjumba bwe yayogedde ku kizimbe ekigenda okuzimbibwa.
Omusumba Jjumba yagambye nti, obuteerabirwa, Ssaabasumba Kiwanuka yakola ebintu bingi mu ssaza ly’e Masaka gye yatandikira Obwepisikoopi mu 1953-1960 olwo n’aleetebwa e Lubaga okufuuka Ssaabasumba okutuusa nga February 22, 1966 lwe yava mu bulamu bw'ensi.

Tags: