Amawulire

Poliisi ekuutidde abazadde okufaayo ku ba P7 ne S4 abaamaze ebigezo byabwe

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, abasabye okubassaako amaaso, okubawa emirimu egibakuuma nga bakola okwewala okutaayaaya n'okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.

Poliisi ekuutidde abazadde okufaayo ku ba P7 ne S4 abaamaze ebigezo byabwe
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ng'abayizi ba S4 ne P7 bamaliriza ebigezo byabwe nga bazze awaka, poliisi abazadde ebajjukizza obuvunaanyizibwa bwabwe ku baana bano.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, abasabye okubassaako amaaso, okubawa emirimu egibakuuma nga bakola okwewala okutaayaaya n'okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.

 

Mu ngeri y'emu alabudde abazadde abalina ebidduka, okwewala okubiwa abaana bano okubivuga kuba tebalina bisaanyizo ate era babakwekwe ebisumuluzo.

 

Abalabudde obutamala gasindika baana bano mu bang’anda n'abantu be bateekakasa nti kuba abamu bayinza okutuusibwako obuliisamaanyi n'okukabasanyizibwa oba okutulugunyizibwa mu ngeri endala.

 

Amalirizza ng'abakuutira okulondoola ebyo bye babeera balaba ku mikutu nti kuba ebimu biyinza okuboonoona oba okubeera eby’obulabe eri obulamu bwabwe.

Tags:
Poliisi
Mawulire
Bigezo
Kukuutira
Kukwata