POLIISI eyongedde okulabula abalambuzi abayingira mu ggwanga, okwewala okukolagana n'abantu abakyamu nga basuubizza okubatambuza n'okubalabirira mu bifo eby’enjawulo.
Kino kiddiridde omukazi Annet Tusuubira poliisi okumukwata nga kigambibwa nti ng'ayita mu kkampuni ya Tubaale Safaari, aliko abalambuzi abawerako be yafera wadde nga layisinsi, yali yamuggyibwako.
Kigambibwa nti nga July 18, aliko omulambuzi gwe yaggyako ddoola 12,000 omusango guli Masindi, ate nga July 31 yafuna ddoola 8,400 omusango guli Ntebe, nga Aug 19 yanyaga ddoola 12,699 omusango baaguloopa Pakwachi nti era nga Oct 30, kigambibwa yabba Abamerika babiri ddoola 6,228 era n'atatuukiriza kye baali baagala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, alabudde abalambuzi okubeera abagendereza ennyo mu nsonga zino.