BADDEREEVA 28 abagambibwa okuvuga emmotoka nga batamidde, poliisi ebakutte mu kikwekweto ekyakoleddwa eggulo ku makya.
Mu ngeri y'emu mu wiiki ewedde, ku Lwokutaano emmotoka 737 ze zaakwatiddwa nga zibangibwa ebipapula bya EPS era nga kaweefube w’okuyoola endala, ekyagenda mu maaso ng'omwogezi w'ebidduka Micheal Kananura bw'annyonnyola.
Byo ebikwekweto by'okukwata mmotoka ganyegenya okuva lwe byatandika, baakayoola eziwera 521 nga ezisinga obungi bannyini zo bazze babalagira okuzirongoosa.
Abavuga nga balina ebitaala n'obugombe obutakkirizibwa, mu wiiki ewedde, baayodde 87 nga kati omuwendo guwera 287 okuva lwe baatandika ekikwekweto kino.
Kananura agamba nti bakyagenda mu maaso n'ebikwekweto bino okulaba nga beewala obubenje ku makubo.