AMATENDEKERO ga waggulu gawabuddwa okutendeka abayizi enkola ya tekinologiya eya AI ebamalako emirimu ensangi zino.
Bano bakubiriziddwa okukyusa engeri gyebabangulamu abayizi, batandike okubategekera ensi y’emirimu ejjudde tekinologiya wa AI, alabika okuba nti kati akoale ebyo byebandikoze, nga bongerako obukodyo obw’enjawulo mu byebasoma.

Dr Italia Academic Registrar ISABA University
Byogeddwa Dr. Fr. Bobby Antony, amyuka Vice Chancellor wa ISBAT university, bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kutikkira kwa university eno okw’omulundi ogw’e 19 okugenda okubeerawo ku lw’okuna lwa wiiki eno nga November 12, 2026 ku woteeri Africana.
Ategeezezza nti, abayizi bateekwa okuva ku University nga bayize obukodyo obusukka ku diguli oba dipulooma zebasomayo, bayige obukodyo obupya mu nsi ya tekinologiya gyetulimu obulabise okumalawo emirimu gyabwe, nti naye bwebabeera n’obukodyo obw’enjawulo kibeera kizibu.

Dr Kumar Pradee
Ategeezezza nti, amatendekero ga waggulu galina okuteekawo ensomesa y’okuyiga obukodyo obupya obukwatagana n’embeera y’ensi okusobola okwanganga tekinologiya naddala owa AI gw’agamba nti, takyadda mabega wabula tulina okuyiga okukola naye nga tetunyigiriziddwa.
Akulira eby’omutindo (quality assurance) ku ISBAT Univasite Sr. Prof Maria Goretti Kaahwa agambye nti, okutegekera abayizi ebiseera byabwe eby’omumaaso kyetaagisa okusitula obusobozi bwabwe ng’abanatu okusinga ku bisomesebwa ku matendekero.
N’ategeeza nti ISBAT univasite erina eky’enjawulo kyeteeka mu bayizi era batuuka okutikkirwa nga bayayanirwa ku katale k’emirimu, nga kati balina enkola ya Job Portal eyambako abayizi okufuna emirimu mu bwangu, ssaako okubasomesa ekisukka ku ekyo kyebasoma mu kibiina.
Omulamwa gwa ISBAT univasite ku matikkira g’omulundi guno guli nti “okugatta tekinologiya asaanidde ne AI okutereeza ebyenjigiriza, okutegeka abayizi abasaanidde” (Harnessing Appropriate Technologies and AI to Transform Educational Outcomes, Shaping Future-Ready Graduates.)

Dr Tom Nsubuga Head of Faculty health Science
Abayizi abasoba mu 700 bebagenda okutikkkirwa omulundi guno, nga kuno kuliko; abayizi 4 abagenda okutikkirwa diguli za PhD, abanatikkkirwa diguli ez’okubiri (masters degree), diguli ezisooka ne diploma, abayizi abasajja bali ebitundu 60 ku 100 ate abakyala bali ebitumndu 40 ku 100.
Ssentebe w’olukiiko lw’abatandisi ba ISBAT Univasite Varghese Mundamattam agambye nti, bafuba okulaba nga bongera obukugu ku bayizi baabwe okusinga okubasomesa okuyita obuyisi ebigezo by’omukibiina, nebabateekerateekera ensi y’emirimu era bagenda okufuluma nga bajjudde bulungi.
Ategeezezza nti, ISBAT Univasite eteeka essira ku masomo ga saayansi ne tekinologiya , Engineering n’okubala (STEM) okubateekateeka mu tekinologiya ne AI, bateeke ettofaali ku nkulaakulana y’eggwanga lyabwe n’ensi yonna.
Dr Kumar Pradeep Director academic affairs
Amyuka cansala wa univasite eno Pulof Mathew Kattampackal ne Dr Pradeep Kumar akulira ensonga z’abayizi bategeezezza nti, ISBAT etendese bulungi abayizi naddala mu tekinologiya okwongera obukugu bwabwe mu kuyiiya n’okugonjoola ebizibu ebibeera bizze, era bakubeera bamugaso eri eggwanga lyabwe.