Omuyizi eyasimattuka okuliibwa embizzi eyamulumba nga wa myezi ebiri gyokka y’omu ku batudde ebya S6 leero e Bududa n’ategeeza nti ekirooto kye kyakubeera looya awolereze abataliiko mwasirizi.

Mukhwana bw'afaanana.
Ono embeera eno eyamutuukako agamba nti yavaako ne bakadde be okwawukana, n'asigala ng'alabirirwa jjajja we omusajja kyokka naye n'afa mu 2013 nga wa myaka 9 gyokka nga tannatandika na kusoma!
Wabula, Katonda nga bw'ateerabira babe, omu ku b'enganda ze eyali yawasa mwannyina wa jajja we omusajja amanyiddwa nga, Michael Wanditi Watalunga, yajja n'amuyamba n'amutwala ku ssomero okutandika okusoma ng'ategedde obuzibu obwali mu mwolekedde.
Mukhwana muyizi ku Hawthorne Scribner High School e Buduuda era akola amasomo okuli Divinity, Entrepreneurship, Art ne ICT