Poliisi e Masaka, ekyatubidde n'ebitundu by'omulambo gw'omuwala eyasalibwako omutwe gye buvuddeko.
Ettemu lino, kigambibwa lyakolebwa Quraish Kamugisha Mujulizi agambibwa okwewaako obujulizi nti yamuggyamu ebimu ku bitundu n'abirya.
Agamba nti omutwe gwali gumutumiddwa omusawo w'ekinnansi e Rakai nti kyokka bwe yagaana okumalayo ssente n'atagumuwa, n'abaako w'agusuula.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti poliisi etaddewo ennamba eri abo abayinza okuba nga bamanyi omuwala ono abategeeze. Kuliko 0741445532, 0741445534 ne 0741445535