MUNNAMAGYE Peter Elwelu ayolekedde okuggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe, oluvannyuma lw’amagye ga UPDF okumufunza mu nfo gye yabadde yeekukumye e Soroti ne gamukwata.

Elwelu Bw'afaanana.
Era ayolekedde n’okuggulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe, ekikontana n’ennyingo ey’okusatu eya Ssemateeka w’eggwanga, kw’ossa akawaayiro aka 23 ak’etteeka ly’ebibonerezo (Penal Code Act (Cap. 128).
Kuno kw’ossa omusango gw’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu, ekikontana n’akawaayiro 119 (1) (h) ak’etteeka ly’amagye erya UPDF Act.
Emisango egyolekedde okuggulwa ku Gen. Elwelu Lt. Gen. Peter Elwelu Bukedde yakitegeddeko nti, bambega b’amagye bamaze ebbanga lya wiiki bbiri nga bagumbye mu buli kitundu Elwelu gy’abadde asuubirwa okwekukuma, okutuusa bwe baamufunzizza ne bamukwata.
Amyuka ssentebe wa NRM mu Buvanjuba bw’eggwanga, Calvin Echodu, yagambye nti, amawulire g’okukwatibwa kwa Elwelu gaabatuuseeko, era beekanze nnyo okuwulira nti, wabaddewo pulaani ez’okutandika ebikolwa eby’ekiyeekera.
Mu kiseera kino, yagambye nti, yamaze dda okukwatagana n’abakulembeze, kw’ossa Abataka b’omu Teso, okwogerezeganya n’ebitongole ebikwatibwako ensonga zino, okuzuula ebisingawo ku misango gya Elwelu.
Era yayongeddeko nti, ne Pulezidenti Museveni baamaze dda okumutegeeza engeri abantu b’e Teso gye bawuliramu olw’okukwatibwa kwa Elwelu, era n’abasaba okusigala nga bakkakkamu, baleme kukozesa bigambo bisobola kusajjula mbeera, ng’enteeseganya bwe zigenda mu maaso.
Eggulo obunkenke bwabadde bwa maanyi mu bitundu by’e Teso, era amaka ga Elwelu abiri okuli agasangibwa mu Aloet Anyara, mu disitulikiti y’e Kalaki, ne Awoja mu disitulikiti y’e Soroti, gaabadde gasaliddwaako ab’ebyokwerinda.