OMUKAMBWE wa Iran era omukulembeze ow’oku ntikko Ayatollah Seyed Mojtaba Hosseini Khamenei, alagidde amagye ga Iran n’ebitongole byonna by’ebyokwerinda okwetegeka okukuba America ne Yisirayiri, kwossa ababayambako bonna, singa baddamu okulumba Iran.
Era ku mulundi guno tebagenda kukoma ku mawanga ga Buwarabu agaasenza enkambi z’amagye ga America gokka, wabula omukono gwabwe ogubonereza gugenda kusukkawo, okusobola okulaba nga America bagituusaako obulumi bw’erifa teyeerabidde.
Era mu ngeri y’emu, omukutu gwa Tasnim News Agency gwalaze nti Ayatollah yakambuwadde nnyo, n’agamba nti singa olutalo luddamu, Iran y’egenda okusalawo ddi lwe lunaakoma, era ngeri ki gye lunaamalirizibwa, nga tewali ddoboozi lya muntu lye bajja kuwuliriza, okutuusa nga Trump ne Netanyahu ejjoogo libawedde mu mitwe.
Era yalagidde amagye ne Bannaddiini okwongera okunyweza emyoyo gya bannansi, n’okwongera okubateekamu omutima ogw’okulwanirira eddiini mu Lungereza kye baayise strengthening spiritual strength and a jihad-oriented spirit, kw’ossa okulongoosa embeera z’abajaasi, basobole okuyingira mu lutalo nga bamaliridde okusaanyaawo Yisirayiri ne America.
Olwamaze okuwa ebiragiro bino, Iran n’erangirira nti ekitongole kya Bungereza ekikessi ekya M16, amagye ga Bungereza ag’omu bbanga, n’egye lya Bungereza ery’oku mazzi, byonna bitongole bya batujju, era bagenda kubikolako ng’abatujju bwe bateekeddwa okukolwako.
Iran egamba nti kino ekikoze olw’enneeyisa ya Bungereza mu kuwagira America ne Yisirayiri mu lutalo lwazo ku Iran, n’okuteeka amagye ga Iran aga Islamic Revolutionary Guards, mu muteeko gw’obubinja bwa bannalukalala.
Omuwandiisi w’olukiiko lwa Iran olw’oku ntikko oluvunaanyizibwa ku byokwerinda, Mohsen Rezaei yagambye nti baatandise dda okukola olukalala lw’enfo ze bagenda okukuba, nga zirumya America ne Yisirayiri, era n’agamba nti amakolero gaabwe ag’ebyokulwanyisa gakoze mizayiro ez’amaanyi mu kiseera kino, ze bagenda okusabuukulula essaawa yonna, singa olutalo luddamu.
Okusinziira ku mawulire agava mu kyondo kya Buwarabu, Yisirayiri ne America bali mu kutegeka olulumba sinziggu ku Iran, oluvannyuma lw’enteeseganya ze babaddemu okumala ebbanga obutavaamu bibala.
Eggulo Pulezidenti Trump yagambye bannamawulire nti waliwo enfo za nukiriya z’akyayagala okukuba mu Iran, era bw’anaasalawo okuzikuba, mu ddakiika 10 agenda kuba azimalirizza.